Oweek Kakomo Oweby'obulimi nga ali ne Katikkiro wamu nabakungu abalala.
Obwakabaka busse omukago n'ekitongole kya NARO okutumbula eby'obulimi nokuwa amagezi ag'ekikugu eri abalimi
Ssenkulu wa BUCADEF Omuk. Robert Musenze yataddeko omukono kulw'obwakabaka, ate Jona Baguma, nassaako kulwa NARO.
Katikkiro agamba nti Aba NARO bajja kuyamba okubuulira abantu ku nnima ey'omulembe esinga okubaza ebirime, ate nga yesigamye ku saayansi kisobozese omulimi okufuna mu birime byalima.
Ategeezezza nti amakolero agasaana mu nsi nga Uganda geego ageesigamiziddwa ku mirimu abantu gyebalinamu enkizo kati nga okulima.
Oweek Kakomo agambye nti omukago gujidde mu kiseera ekituufu nga obwakabaka buli mu ku bbulula ebyenfuna byabantu naddala mu nteekateeka yemmwanyi terimba.
Obwakabaka bweyamye okufunira NARO ebifo ebyenjawulo mu Masaza kwebanaasomeseza abantu nnima ey'omulembe.
Yona Baguma, Ssenkulu wa National Agricultural Research Organisation, alaze emigaso egyenjawulo egiri mu kirime eky'emmwanyi egivudde mu kunoonyereza kwebakoze,omuli, obuwoowo, ebizigo, ensaano, obuwunga obukozesebwa mu kulongoosa olususu (Facial scrub), n'ebijimusa.
Agasseeko nti essira bagenda kulissa ku kukubiriza abantu okujjumbira okulimira awafunda ebirime omuli, ejjobyo, Nakati, ebigaaga, ettimpa, n'okulunda ebisolo, kubanga kizuuliddwa nti bino bya ttunzi nnyo ate birina ekiriisa omuntu yenna kyeyetaaga.