
Buganda ne Grain Pulse bassa emikono ku nkolagana – Owek Roland Ssebuufu ne Fredrick Petrus Van Oudtshoorn bakola endagaano mu butongole ng’abakungu ba Buganda batunuulidde
Obwakabaka bwa Buganda butongozza ekigimusa ky’emmwaanyi ‘Ekigimusa ky'Emmwanyi Enkulu’ ekikolebwa Grain Pulse Ltd era ne butta omukago n’ekitongole kino okutumbula ekirime ky’emmwaanyi, okuyamba abalimi okwongera ku mutindo n’obungi bw’amakungula. Bukakasizza nti ekigimusa kino kikola bulungi ku mmwanyi n’ebirime ebirala nga kigendereddwamu okwongera ku mutindo n’amakungula.
Omukolo guno guyindidde mu Bimuli bya Bulange ku Lwokuna, era gwetabiddwako Owek Roland Ssebuufu ng’akiikiridde Buganda ne Fredrick Petrus Van Oudtshoorn ku lwa Grain Pulse. Omumyuka ow’Okubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka, Owek Robert Waggwa Nsibirwa, yakiikiridde Katikkiro mu kutongoza ekigimusa kino.
.Bw'abadde atongoza ekigimusa kino wamu n'okutta omukago n'aba Grain Pulse Ltd, Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, nga yakiikiridde Katikkiro, agumizza abantu ba Ssaabasajja Kabaka nti ekigimusa kino kyekenneenyezebbwa bulungi, kiri ku mutindo, era kiyise mu misoso gyonna egyetaagisa.
Yategeezezza nti Grain Pulse Ltd, ekitongole ky’Abagirimaani ekifulumya ekigimusa kino, yeesigika mu kufulumya ebintu eby’omutindo, era n’ekigimusa ky’emmwaanyi kitabuddwa ku musingi gwa mmwanyi Terimba. Abalimi basaanye okukyeyunira olw’omukago ogwateereddwawo ne BUCADEF.

Okutta omukago – Owek Roland Ssebuufu ne Fredrick Petrus Van Oudtshoorn beebunzi zaako, mu maaso ga Owek Robert Waggwa Nsibirwa, ku mukolo gw’okutongoza
Kamalabyonna ategeezezza nti mu Nnamutayiika w’Obwakabaka mulimu kaweefube w’okutumbula obulimi bw’emmwaanyi newankubadde nga waliwo okusoomoozebwa kw’okukaddiwa kw’ettaka. Yalambise nti omulimi kyabeera asigaddwa okukola kwe kuliisa ettaka nga aliwa ebigimusa ebituufu ku miwendo egisaamusaamu.
Minisita w’Obulimi, Obulunzi, Obuvubi n’Obwegassi, Owek Hajji Amisi Kakomo, yakakasizza nti abantu bangi bakungiddwa okulima emmwanyi naye enkyukakyuka etera okuleetebwa amakungula amatono. Yategeezezza nti oluvannyuma lw’okuleeta ekigimusa kino, abalimi baakufuna ebibala bingi.
Ssenkulu wa BUCADEF, Omukungu Alfred Bakyusa, naye yagumizza abalimi nti singa bakozesa ekigimusa kino, bajja kubona obulungi mu kirime ky’emmwaanyi era n’enkolagana yabwe ne Grain Pulse Ltd ejja kugenda bulungi awatali buzibu.
Fredrick Petrus Van Oudtshoorn ku lwa Grain Pulse Ltd, yategeezezza nti kampuni eno efulumya bigimusa n’eddagala ly’ebirime n’ebisolo, nga bafa nnyo ku magoba g’omulimi. Yagambye nti Africa erina ettaka eggimu, era Uganda esobola okwenkana Tanzania mu kufulumya kasooli singa abalimi bamanya enkoseza y’ebigimusa mu bipimo ebituufu.
Omukolo guno gwetabiddwako Baminisita ba Kabaka okuli Owek Israel Kazibwe Kitooke, Owek Noah Kiyimba, Owek Ssaalongo Robert Sserwanga, abalimisa b’Obwakabaka ku masaza, n’abalala.