Oweek Joseph Kawuki ng'atongoza nayikondo wamu n'abakulembeze abalala
Oluzzi olwogerwako lusimiddwa bannamikago aba Wells Of Life ne BUCADEF, ku ssomero lya Christ the King P/S mu Ggombolola Musaale Kiyuni nga lwakukozesebwa abatuuze ku byalo ebiriraanyewo.
Luno lwe luzzi olwa 857 okuva enteekateeka eno etandikibwawo.
Bwabadde alutongoza oluzzi luno, Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa Kabaka n'ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, ategeezezza nti eno yeemu ku nkola eggyayo amakulu ga bulungibwansi abantu mwebayita okwerwanako ku bizibu ebibaluma mu bitundu byabwe.
Oluzzi lwa Nayikondo nga bwe lufanana
Ensimbi ezikoze oluzzi luno zawebwayo abantu ba Kabaka mu Ssaza New England (Massachussets, Boston, Rhode Island, New Hampshire, Connecticut, ne Vermont).
Essaza lino mu kiseera kino likulemberwa Oweek Henry Ndawula, wabula tebakomye ku luzzi lwokka naye n'oluwalo nalwo baluwaayo.