
📸 Owek. Katikkiro wakati nga ali ne Minisita w’ebyamawulire wamu n’abammemba ba Boodi ya CBS FM
Katikkiro Charles Peter Mayiga atenderezza olukiiko lwa bboodi ya leediyo y’Obwakabaka – CBS FM – olw’obumalirivu n’obuvumu bweboolesezza mu myaka mukaaga gy’ebadde ekozi. Asabye era n’abaweereza abalala okulabirako ku bboodi eno.
Kamalabyonna okwogera bino abadde ku kabaga akasiibula bammemba ba bboodi, akaategese ku Butikkiro.
Katikkiro agambye nti obumalirivu n’okwewaayo kw’abakiise ku bboodi kwetagisa nnyo mu kukuumira leediyo CBS FM ku mutindo ogw’amaanyi n’okusigala nga etendekebwa.
Bammemba ba bboodi bano bakwasiddwa ebbaluwa ez’okusiima okuva mu Bwakabaka olw’obuweereza bwabwe obwakola enjawulo.