donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Obwakabaka busiibudde abasomesa ababanguddwa ku nsomesa y’abaana abato mu nassale

Obwakabaka busiibudde abasomesa ababanguddwa ku nsomesa y’abaana abato mu nassale
Abasomesa nga babangulwa mu byenjigiriza by’abaana abato

Abasomesa nga babangulwa mu byenjigiriza by’abaana abato

Obwakabaka busiibudde abasomesa abamaze ennaku ssatu nga babangulwa ku nsomesa y’abaana abato mu nassale z’Obwakabaka ezitandikiddwawo ku mbuga z’Amasaza.

Bano baweereddwa ebitabo, yunifoomu, entebe, n’eby’okuzannyisa by’abaana mu bibiina.

Gyebuvuddeko, Ssaabasajja Kabaka yasiima Obwakabaka butandikewo eby’enjigiriza ebitandikira ku mutendera gwa nassale, olwo abaana abato basobole okwongera okuganyulwa obutereevu mu nteekateeka z’Obwakabaka ez’ebyenjigiriza.

Bwabadde akwasa abasomesa bano ebbaluwa zaabwe ezibakakasa nti babanguddwa, Minisita w’Amawulire, Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Israel Kazibwe Kitooke, asabye abasomeseddwa bano okukyuusa mu nneeyisa zaabwe.

Yabagambye nti kati baweereza Kabaka, babeere eky’okulabirako eri abalala, era bafeeyo okukola n’obunyiikivu n’okwagala. Yeyongedde okubasaba balage abaana okwagala, beewale okubeekaanya, era bafuule abaana ab’omugaso eri Ensi.

Image

Owek. Nakate Kikomeko ng’akwasa abasomesa yunifoomu z’abayizi

Minisita w’Ebyenjigiriza n’Enkulaakulana y’Abantu, Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, agambye nti Minisitule y’Enkulaakulana y’Abantu erina omulamwa gwa kulinnyisa omutindo gw’ebyenjigiriza mu bantu nga Ssaabasajja Kabaka bweyakinogaanya.

Nga yesigama ku bibalo, Minisita Choltilda ategeezezza nti ebitundu by’abaana abayiga nassale mu Uganda bikyali wansi nnyo singa bigerererwa n’amawanga agatwetoolodde.

Yagambye nti teri Nsi esinga kugenda mu maaso okusinga eby’enjigiriza byayo. Obwakabaka kwebwavudde okufunayo abayigisa okubangula abasomesa ku nkwata n'enjigiriza y'abaana abato.

Omukolo gubadde ku ssettendekero wa Muteesa I Royal University e Kakeeka, Mengo.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK