donate

Choose Language

Luganda English

  
donate

Obwakabaka buse Omukago ne bannakyewa okulwanyisa embuto mu baana abafuna embuto nga tebannetuuuka

Obwakabaka buse Omukago ne bannakyewa okulwanyisa embuto mu baana abafuna embuto nga tebannetuuuka
Image

Owek. Serwanga Robert nga ali n'abayizi wamu n'abakulembeze b'ekitongole ekyo

Obwakabaka bwa Buganda bukwataganye n’ebibiina eby’obwannakyewa ebyegattira mu mukago gwa ‘Girls Not Brides’ okulwanyisa embuto mu baana abafuna embuto nga tebanneetuuka.

Bano olwa leero ku Mmande bakung’aanidde ku mbuga enkulu e Bulange e Mmengo, ne bakubaganya ebirowoozo ku butya bwebasobola okukomya ebikolwa bino wansi w’omulamwa ogugamba nti “Abaana, n’abakulembeze ab’Ennono okwegatta okulwanyisa obufumbo bw’abato, embuto mu baana abatanneetuuka n’okutumbula eby’enjigiriza.”

Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone mu Buganda, Owek. Robert Serwanga bw’abadde ayogerera mu nteekateeka eno, asabye ab’ebyokwerinda okusitukiramu bakwate abakola ebikyamu ku baana abato okusobola okukomya omuze guno.

“Mu Buganda wano okufunira olubuto ku luggya kivve, era nazzikuno ng’abaana beewala nnyo okufuna olubuto obutaswaza bazadde baabwe n’ennyumba mwe bava, nga n’omuzadde eyalabiriranga obulungi omwana n’akula okutuuka okufumbirwa nga talabye ku musajja yenna, nga aweebwa ebirabo okuva ku buko,” Owek. Serwanga bw’ategeezezza.

Owek. Serwanga Robert nga awa obubaka bwe

Owek. Serwanga Robert nga awa obubaka bwe

Minisita Sserwanga agasseeko nti waliwo abakola ebikyamu ne basalawo okwekweka mu bitiibwa, mu ddiini nemu mbeera endala, era agambye bano tebasaana kuttira ku liiso wabula bakolweko omukono ogw’amateeka.

Ono annyonnyodde nti enkuza ennungi ey’omwana ng’alambikibwa mu mpisa n’okussa ekitiibwa mu bantu kikola kinene nnyo mu kutaasa abaana okufuna embuto nga tebanneetuuka.

Owek. Sserwanga akalaatidde abaana abato okwewala ebikoosi by’abalina emize ng’okozesa ebiragalalagala kubanga muno mwe muva ababasindiikiriza okwenyigira mw’ebyo ebivaamu embuto.

Akubirizza abakyaali mu masomero okussa omwoyo ku kusoma kwabwe baleme kubuzibwavuzibwa buntu butono kubaggya ku mulamwa.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK