
📸 Omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, nga asoma obubaka obuvudde e Mengo mu kuziika kwa Maama Mary Kabasomi Amooti e Buwunga – Masaka
Masaka – Obwakabaka bwa Buganda busindise obubaka bw’obusaasizi eri Omuk. Fred Mukasa Luzinda, okuva ewa Katikkiro Charles Peter Mayiga, ng’oluvannyuma lw’okufiirwa nnyina, Omugenzi Mary Kabasomi Amooti, eyaziikiddwa e Buwunga – Nkuke mu disitulikiti y’e Masaka.
Obubaka buno busomeddwa Omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, mu kuziika okwategekeddwa nga ku lw’okutaano.
Katikkiro, mu bubaka bwe, yasiimye Katonda olw’ebbanga lye yawa Omugenzi nga mu kiseera ekyo yasobola okukulaakulanya abaana be n’abayigiriziza empisa, obukozi n’okwagala abantu.

📸 Abamu ku bakungubazi abetabye mu kuziika kwa Maama Mary Kabasomi Amooti, nnyina wa Omuk. Fred Mukasa Luzinda
Yagasseeko nti omuk. Fred Mukasa Luzinda kyakulabirako kirungi mu byobulimi, naddala mu mmwanyi, era Katikkiro amwebazizza olw’okuweereza Obwakabaka n’obwesimbu bwe abeerangako ku bboodi ya mmwanyi.
“Ekifaananyi kya Maama wa Luzinda kijja kusigala nga kya kwebererwako eri baana be. Tubasabira okufuna amaanyi mu kiseera kino eky’okusoomoozebwa,” bw’atyo Katikkiro yayogerera mu bubaka obwasomebwa Owek. Nsibirwa.