Sipiika w'olukiiko lwabuganda nga tekako ekimuli
Obwakabaka busaasidde Olulyo Olulangira olw'okubula kw'Omulangira James Ssemakookiro ng'ono muganda w'Omulangira Daudi Namugala Mawanda ate nga mutabani w'Omulangira George William Mawanda.
Okusabira omwoyo gw'Omulangira James Ssemakookiro kubadde mu Lutikko e Namirembe, nga kukulembeddwamu Dean wa lutikko Ven. Jonathan Kisawuzi.
Okusaba kuno kwetabiddwamu Abalangira, ba Nnaalinya n'Abambejja, ba Katikkiro abaawummula, ababaka mu lukiiko lwa Buganda bannabyafuzi n'abantu ab'enjawulo.
Abo olulyo olulangira nga bakulembedwa Nalinya Lubuga
Mu ku sabira Omulangira Ssemakookiro Eyaseeredde. Obubaka bwa Katikkiro abutisse Omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwagga Mugumbule bw’abadde yeetabye mukusabira Omubiri gw'Omugenzi ku Lutikko e Namirembe.