donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Obwakabaka bukyazizza abayizi ba Zambian Defence Forces College

Obwakabaka bukyazizza abayizi ba Zambian Defence Forces College
Owek. Patrick Luwaga Mugumbule ne Owek. Kazibwe baaniriza ekibinja okuva mu ttendekero ly’amagye ga Zambia e Bulange mu Mengo.

Owek. Patrick Luwaga Mugumbule ne Owek. Kazibwe baaniriza ekibinja okuva mu ttendekero ly’amagye ga Zambia e Bulange mu Mengo.

Ekibinja okuva ku Zambian Defense Forces and Command Staff College mu ggwanga lya Zambia bakyadde Embuga nga bali mu kunonyereza kwe baliko mu mawanga ag’enjawulo ku ntambuza y’emirimu naddala mu nsonga z’ebyokwerinda mu Buganda era bano ku lwa Katikkiro baanirizidwa Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule.

Col. John Buzi Nkonjera nga y’akulembeddemu ekibinja kino annyonyodde nti essomero lino lyasindise abayizi baalyo mu mawanga ag’enjawulo okuli Rwanda, Egypt, Mauritius n’amalala nga baluubirira okumanya entambuza y’emirimu mu mawanga ago kale no bbo ekibinja kyabwe kyazze mu Buganda okumanya ku by’okwerinda, ebyensimbi n’enkulakulana y’abantu Obwakabaka bwe buweereza abantu baabwo.

Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda bano abawadde ebyafaayo bya Buganda gy’evudde mu kyasa ky’e 13. Alaze Obwakabaka bwe buzze bweyubula nga bulina Kabaka nga omukulembeze waabwo ow’omuntikko.Ono ku ludda lw’Obwakabaka ku nsonga z’ebyokwerinda mu Buganda alaze nti okusoomoozebwa okukyasinze kwe kulumbibwa kw’eyali Kabaka mu 1966 (Kabaka Muteesa II) eyawangagusibwa, Obwakabaka ne bumala emyaka 27 nga tebulina mukulembeze waabwo wa ku ntikko.

Owek. Mugumbule era alaze nti oluvanyuma lwa gavumenti okukyuka kyasalwawo Obukulembeze bwe nnono okuddizibwawo era n’Obwakabaka ne buddawo kyokka Kabaka teyafuna maanyi na buyinza bwankomeredde nga bweyaylina mu kusooka, annyonnyodde nti tewali musolo gukunganyizibwa Bwakabaka kyokka bukola ekisoboka okuweereza abantu.

Ekibinja ky’ebyokwerinda okuva e Zambia nga kilambula mu Masiro e Kasubi.

Ekibinja ky’ebyokwerinda okuva e Zambia nga kilambula mu Masiro e Kasubi.

Bano babuuza ebibuuzo nga Obwakabaka bweyimirizaawo butya era Minisita Kiyimba asinzidde wano n’abasunira ku kyama nti abantu ba Ssaabasajja bawaayo ensimbi okuyita mu nkola y’oluwalo mu ngeri y’okuwagira entambuza ennungamu ey’emirimu gy’Embuga.

Abagenyi b’Embuga bano balambuziddwa ne ku bifo eby’enjawulo eby’enkizo mu Buganda okuli; Ekisenge omutuula olukiiko lwa Buganda, Olubiri lwa Kabaka e Mengo n’Amasiro.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK