Katikkiro w’Obwakabaka bwa Eswatini ne Katikkiro wabuganda.
Kamalabyonna wa Buganda Oweek Charles Peter Mayiga azzeemu okukinogaanya nti obwakabaka ssi bwakupondooka noomulundi noogumu mu kubanja enfuga eya Federo.
Katikkiro okwogera bino abadde ayaniriza Katikkiro w’Obwakabaka bwa Eswatini, Russell Mmiso Dlamini, agenyiwaddeko ku mbuga enkulu ey'Obwakabaka enkya ya leero, nga abadde wamu ne Minisita we ow'ensonga ez'ebweru, Mukyala we, n'abakungu okuva mu Gavumenti ya Muswati, era nga basoose kwevumba kafubo ne Katikkiro.
Omulangira Wassajja katikkiro,baminisiter bakabaka nabagenyi okuva Eswatini
Katikkiro abagenyi abayisizza mu byafaayo by'Obwakabaka era nategeeza nti obwakabaka bubeerawo lwa bantu baabwo abewaayo okuweereza Kabaka ate n'okuwagira emirimu gyonna egikolebwa ate wamu n'obusizi bwensimbi obukolebwa mu kaseera kano.
Katikkiro bano abategeezezza ku mikisa egy'okusigamu ensimbi egiriwo era n'abayita okujja kuno basige ensimbi.
Ye Katikkiro wa Eswatini, Russell Mmiso Dlamini, yeyamye okutwala enkolagana m umaaso era nakaatiriza obukulu bwokukuuma emirembe mu nkulaakulana ye ggwanga.
Omugenyi oluvannyuma alambuziddwa Bulange, n'emikutu gy'Obwakabaka egy'amawulire wejikakkalabiza emirimu okuli Radio CBS ne BBS Terefayina wamu n'ekizimbe Masengere ekyazimbibwa mu nkola y'ettoffaali.