Emikolo gibadde ku mbuga y’eggombolola eya Ssaabawaali Gombe, mu Kyaddondo olwa leero, Katikkiro n’akubiriza abantu okusitukiramu bawakanye ebikolwa ebityoboola entobazi mu linnya ery’enkulaakulana, ate n’okulwanirira enfuga ya Federo, ebitnu byekuumire obutonde bwabyo.
Katikkiro alaze obukulu bw’amazzi eri obulamu obwa buli ngeri, awamu n’okutumbula embeera z’ebyobulamu, ng’abantu bagakozesa okweyonja ne bagoba endwadde eziva ku bujama.
Avumiridde abamansa kasasiro n’okuyiwa obujama mu ntobzi b’agambye nti beebasinze okuzoonoona n’okuzibikira ensulo z’amazzi, n’asaba gavumenti obutakkiriza bantu kwesenza mu ntobazi nga beekwasa obwavu.
Gavumenti agirabudde nti okusima amafuta n’okuyiikula zzaabu, tebijja kuyamba Bannayuganda, okujjako ng’enywezezza amateeka ku batyoboola obutonde, ne bataasa ensulo, ne tuba n’amazzi agamala, ate nga mayonjo.