Katikkiro nga atuuka e Kyagwe
Entikko y'emikolo ebadde Kyaggwe ku mbuga ye Ggombolola Mutuba V Nyenga, wansi w'omulamwa, "Bulungibwansi mu bavubuka abateeketeeke ge maanyi ga Buganda".
Omukolo gukulembedde n'okutongoza mayiro ya bulungiwansi Ssaabasajja Kabaka gye yaggulawo mu 2018 mu Ggombolola ya Mutuba V Wakisi, mu Kyaggwe.
Omugenyi omukulu abadde Katikkiro Charles Peter Mayiga, era mu kwogera kwe agugumbudde Gavumenti olw'okuwanika e bbeeyi y'amasannyalaze agandiyambyeko abantu mu kufumba n'okuddukanya emirimu mwebafuna ensimbi. Olw'okuba abantu tebasobola bisale by'amasannyalaze, bawalirizibwa okutema emiti bafune amanda gebafumbisa awaka.
Enkola ya bamusiga nsimbi okuzimba mu ntobazi, Kamalabyonna agamba nti nayo ekoze kinene okutyoboola obutondebwensi.
Olw'okuba Buganda erina omugabo mu Uganda, ate nga ye yawayo obwetwaze mu 1962 ng'eyita mu Ssekabaka Muteesa, kikulu okukuza ameefuga ga Buganda nga tukola bulungibwansi ate nga bwetujjukira obuvunaanyizibwa Ssekabaka Ttembo bweyasiga mu bantu be bweyatongoza engoma ssaagalaagalamidde- Katikkiro.
Yeebazizza Abaami ba Kabaka okwesowolayo okuweereza Beene nga batambulira mu buufu bwa bajjaja ffe bwebaakolanga, n'abasaba okuba abayiiya, abamalirivu, bakolerere obwerufu era babe n'amaaaso agalengera ewala.
Katikkiro ne baminisita bakabaka
Era akuutidde Abaami okugatta abantu ba Kabaka mu biti byonna bye balimu awatali kusosola kubanga bonna baana ba Kabaka kasita oli akimanya nti Kabaka ye kitaffe.
Era abasabye banyweze ensonga ssemasonga ettaano ng'ekkubo okugatta abantu olwo abalabe ba Buganda bajja kubulwako we bayita.
Minisita wa Bulungibwansi n'obutondebwensi, Amazzi n'Ekikula ky'Abantu, Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, akubirizza abantu okwemanyiza enkola ya bulungibwansi eyo mu bitundu gye babeera bakuume obuyonjo.
Ate ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa Kabaka n'ensonga za Buganda ebweru, Oweek. Joseph Kawuki, ategeezezza Katikkiro nti wetutuukidde ku lunaku luno nga abaami bonna bamaze okubangulwa mu nsonga z'obukulembeze, era bangi batuuziddwa, bwatyo n'asaba Abaami okukola emirimu gya Beene nga beesigama ku bwesigwa bweyabateekamu era banyweze emisingi gy'obukulembeze bw'o bwakabaka ku mitendera gyonna.
Ku mukolo guno Abaami ba Kabaka abatwala ekitongole kya bulungiwansi mu Kyaggwe, baweereddwa ebintu ebikozesebwa mu kukola bulungibwansi, omuli; ebitiiyo, enkumbi, kawuuba n'ebirala.