donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Obwakabaka bukungubangidde Dr. Aggrey Kiyingi

Obwakabaka bukungubangidde Dr. Aggrey Kiyingi
Image

Oweek. Noah Kiyimba mu lutikko e Namirembe

Mu bubaka bwa Katikkiro obusomeddwa Oweek. Noah Kiyimba mu lutikko e Namirembe, Katikkiro atendereza emirimu gy'omugenzi gw'agambye nti abadde musawo mukugu nnyo mu kujjanjaba endwadde z'omutima, yali musaale mu kutumbula ebya tekinologiya n'okuleeta ebyuma bikalimagezi mu Buganda ne Uganda.

Dr. Kiyingi yali musaale nnyo mu kuwagira CBS FM mu kutandikibwawo n'okuwagira emirimu gy'Obwakabaka era yawaayo n'ebyuma bikalimagezi ebiwerako.

Ku lw'Obwakabaka asaasidde nnyo Oweek. Nelson Mugenyi Omubaka wa Kabaka e Sweden ne Scandinavia, Omukungu Fredrick Lukwabwe Kisirikko, olw'okuvibwako muganda waabwe, Nnamwandu Mayimuna Nakayiira Kiyingi, bamulekwa, abooluganda n'abemikwano wamu n'Omutaka Lwomwa olw'okuvibwako muzukkulu we abadde omusaale ennyo mu kika ky'Endiga.

Yeebaziza Katonda olw'obulamu bwa Dr. Aggrey Kiyingi era era n'asaba Katonda agumye abantu be mu kaseera kano akazibu, era n'omwoyo gw'omugenzi agulamuze kisa.

Ku lulwe Oweek. Noah Kiyimba ateegezeza nti mu kiseera weyasomera ku Ssentendero wa Nkumba, Dr. Kiyingi yabawa ebyuma bikalimagezi era agamba nti ku bukugu bw'alina mu bya tekinologiya, omugenzi alinako ettofaali, bwatyo naye n'asaasira abantu bonna olw'okuvibwako kwa Dr. Aggrey Kiyingi

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK