Omugenzi nga bamulese okumusabira e Namirembe
Obwakabaka butenderezza nnyo Prof. Khiddu Makubuya olw'obuweerezaabwe eri Nnamulondo n'eggwanga.
Obubaka bw'Obwakabaka busomeddwa Ssaabawolereza Oweek Christopher Bwanika omu ku bayizi omugenzi beyasomesa mu myaka gy'e 80 era amujjukirako obuwabuzi bwe yamuwa nga amaze okulondebwa kubwa Ssaabawolereza w’Obwakabaka.
Bino byogeddwa mu kusabira omugenzi mu Lutikko e Namirembe nga kukulembeddwamu Omulabirizi we Luwero eyawummula Eridard Nsubuga.
Katikkiro ayogedde ku mugenzi Khiddu Makubuya ng'omuntu abadde ayagala ennyo ensi ye era yajikolera ebirungi nga omubaka wa Paalamenti ne mu bifo ebirala ebyobukulembeze okwo nga kwogasse okuwa abalala ekitiibwa.
Amwebazizza okubasomesa amateeka nga bassaayo omwoyo ku byebasoma n'okwagala ensi yaabwe.
Ssaabawolereza Oweek Christopher Bwanika ng'asoma obubaka obuvudde mu bwakakabaka
Omulabirizi Nsubuga ayogedde ku mugenzi Khiddu Makubuya ng'omuntu omwetoowaze, agasse emirimu gye n'ensoga za famile ye, era atuwa eky'okulabirako ekyokutambuliza awamu emirimu gyetukola, mu Katonda, n'amaka.
Obubaka bwa Pulezidenti busomeddwa Ssaabawolereza wa Uganda Kiryowa Kiwanuka.
Kulw'abaana, Kimuli Ivan, bategeezezza nga bwebagenda okusubwa omukwano gwa kitaabwe.