
Ekifananyi ky’omugenzi nga bwabadde afanana
Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde Corporal Julius Mukasa Mulyanga, eyabade omukuumi era ddereeva wa Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda okumala emyaka egisukka mu 20.
Okusaba okw'okwebaza Katonda olw'obulamu bwe kwabade ku kkanisa ya St. Stephen's e Kireka, nga kwetabiddwamu Nnaabagereka, abakungu b’Obwakabaka, abakungu b’eggye lya UPDF, abooluganda n’emikwano.
Mu bubaka bwa Katikkiro Charles Peter Mayiga obwatuusiddwa Minisita Choltilda Nakate Kikomeko, Obwakabaka bwasiimye obuweereza bw’omugenzi mu bwesimbu, obukakkamu n’obwegendereza. Katikkiro yasaasidde abooluganda lwe, nnamwandu, abaana n'abantu bonna abamumanyi, n’asaba Katonda abagumye.

Owek. Nakate Kikomeko nga asoma obubaka bwa Katikkiro
Nnaabagereka mu bubaka bwe, yalaze ennaku olw’okufiirwa omukozi eyeyagaliza omulimu gwe, nga mutendeke, omuwulize, era alaga obwesimbu mu mirimu gye.

Maama Nnaabagereka ku kkono n’Owek. Nakate Kikomeko ku ddyo
Omuk. John Kitenda, Ssenkulu wa Nkuluze – ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’okwerinda mu Bwakabaka – yasiimye omugenzi ng’omukozi omuyiiya, eyayanguwa okuyiga n’okwekuuma mu buweereza bwe. Yagambye nti Mulyanga yabadde ekyokulabirako mu maka ne mu bakozi banne.
Abakulu mu by’okwerinda okuli Col. Edward Herbert Tahunga ne Capt. Christopher Lutwama baasiimye obuwulize n’obwesigwa by’omugenzi, era ne bakubiriza abantu okufaangayo okwekebeza emirimu gyabwe egy’obulamu.

Abakulu mu byokwerinda nga bawadde omugenzi ekitiibwa kya nkomerero
Omugenzi waakuzikibwa enkya ku kyalo Kanywa, Naluzaali mu disitulikiti y’e Masaka, essaza Buddu.