Katikkiro nga atuusa obubaka obusasira eri H. E. Godfrey Kirumira
Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde abadde Pulezidenti wa Namibia Hage Gottfried Geingob eyavudde mu bulamu bw’ensi eno gyebuvuddeko.
Kulw'obwakabaka, Katikkiro akyaliddeko omubaka wa Namibia mu Uganda H. E Godfrey Kirumira mu kakkalabizo lye e Nakasero n'amusaasira wamu n'bannansi ba Namibia olw'okufiirwa omukulembeze waabwe awamu ne Africa yonna kuba ono akoze nnyo okulaakulanya abantu be.
Kamalabyonna ayogedde ku mugenzi ng'omuntu nga omukulembeze owamaanyi akoze ekinene okulaba nga ensi ya Namibia ekula mu by'enfuna, n'ekifaananyi kyayo mu mawanga amalala kirungi, era eyogerwako nga ensi etebenkedde obulungi era mulimu emikisa mingi eri bamusiga nsimbi.
Owek. Mayiga annyonnyodde nti kyewunyisa okulaba Pulezidenti ono bweyavudde eggwanga lyasigadde liri mu mirembe ekintu ekitatera kubaawo mu Africa kubanga kino kyongera okuwa Abafirika essuubi.
H. E. Godfrey Kirumira kudyo nga ayaniriza oweek Katikkiro ku kitebe kya egwanga lya Namibia mu Uganda
Omubaka wa Namibia mu Uganda H. E. Godfrey Kirumira, asanyukidde okukyala kwa Katikkiro ku kitebe kya Namibia, nti kiraga omukago ogw'amaanyi wakati wa Uganda ne Namibia era guweesa ekitiibwa eri mu nsi yonna.