donate

Choose Language

Luganda English

  
donate

Obwakabaka bujjukidde emyaka 100 egya Ssekabaka Muteesa II

Obwakabaka bujjukidde emyaka 100 egya Ssekabaka Muteesa II
Image

Nabagereka, Nalinya Agnes Nabaloga wamu naboluly'olulangira

Ssaabasumba Ssemogerere asabye abantu okumulabirako.

Obwakabaka bwa Buganda bujjukidde bwegiweze emyaka 100, Ssekabaka Sir Edward Luwangula Muteesa II gyeyandibadde nagyo era nebatendereza emirimu amakula gyeyakolera ensi ye Buganda ne Uganda okutwaliza awamu.

Ssekabaka Muteesa yali kirabo okuva eri Katonda eri eggwanga lyaffe n’Obwakabaka bwa Buganda, era ne bw’ewayisewo emyaka 100, akyajjukirwa n’ekitiibwa.

Ssekabaka Muteesa II ye Kabaka wa Buganda owa 35 era yazaalibwa nga 19/12/1924 n'akisa omukono nga 21/11/1969.

Yali Pulezidenti eyasooka owa Uganda ng'efunye obwetwaze 1962, Olwaleero (Lwakubiri) mu Ekelezia e Lubaga wabaddewo mmisa ey'okumujjukira n'okutendereza emirimu amakula gyeyakolera ensi ye Buganda ne Uganda okutwaliza awamu.

Ssekabaka Edward Muteesa II ajjukirwa nnyo olw'okulwanirira obwetwaze bwa Uganda mu 1962 . Yafiira mu buwanganguse nga 21/11/1969.

Omulangira David Kintu Wasajja n'Omwekitiibwa Waggwa Nsibirwa

Omulangira David Kintu Wasajja n'Omwekitiibwa Waggwa Nsibirwa

Bw’abadde ayigiriza Ssaabasumba w’Essaza Ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere asabye bannayuganda naddala abakukembeze bulijjo okwewala ebikolwa ebiyinza okuviirako embeera y’obutabanguko mu ggwanga nokuttattana ebifo abantu gyebandiddukidde ate okufuna okuyambibwa.

Ssaabasumba era asabye abakulembeze okulabira Ssekabaka Edward Muteesa II eyali ayagala ennyo Eggwanga lye.

Ssaabasumba Paul ssemogerere akalaatidde abantu bonna okweyisa obulingi eri abalala n’okukola ebyo byebateekeddwa okukola mungeri ennambike obulungi era beewale obutabanguko kubanga buzza eggwanga emabega.

Ono agasseeko nti Ssekabaka Edward Muteesa II yali musajja Njasabiggu nga yalwanirira nnyo eddembe lyobuntu bwatyo naasaba abalala okumulabirako.

Ku mukolo guno ogwategekeddwa Ekelezia n'Abenju ya Ssekabaka Muteesa II, ab'ekitiibwa bangi babaddewo. Omulangira David Kintu Wasajja yakiikiridde Ssaabasajja Kabaka Mutebi II era nga yatuusizza obubaka bwa Ssaabasajja era ono asiimye Ssaabasumba n’Ekelezia olw’okukuuma omukwano n’omukago eri Obwakabaka, kubanga Ekelezia ky’ekifo Ssekabaka Muteesa II weyeewogomanga nga Olubiri lulumbiddwa.

Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Lubuga Agnes Nnaabaloga, n’abalangira nga bakulembeddwa Omulangira Wasajja, nabo baabadde mu Lutikko. Abalala okuli bakatikkiro abawummula, John Baptist Walusimbi ne Mulwanyammuli Ssemwogerere, ababaka ba Palamenti, n’abakulira ebyobufuzi mu Buganda ne Uganda, bonna beegattidde mu misa eno.

Aboluly'olulangira  n’abakulembeze b’eddiini nga bakulembedwamu Ssaabalabirizi Paul Ssemogerere

Aboluly'olulangira n’abakulembeze b’eddiini nga bakulembedwamu Ssaabalabirizi Paul Ssemogerere

Ye Omumyuuka ow’Okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa n’Owekitiibwa David Mpanga boogedde ku Ssekabaka Muteesa II nga eyali omuntu omwetowaze, omukakkamu era ayagaliza abalala.

Abantu abalala abetabye mu kusaba kuno nabo boogedde ku Ssekabaka Muteesa II ng’omuntu eyawaayo obulamu bwe n’ebitiibwa bye okutaasa ensi Buganda n’okukuuma ekitiibwa kyaayo mu biseera ebizibu.

Kinajjukirwa nti Ssekabaka Edward Muteesa II ye Kabaka wa Buganda owa 35 era ye Pulezidenti wa Uganda eyasookera ddala, Ono ajjukirwa nyo olw’okulwana okulaba nga Uganda efuna obwetwaze, okwagala ensiye wamu n’Okulwanilira eddembe lyobuntu, mu kaseera kano Ssekabaka Edward Muteesa yandibadde aweza emyaka 100, wabula kati giweze emyaka 55 bukyanga aggya omukono mu ngabo.

Omukolo guno gwetabiddwako abantu ab’enjawulo omuli, Bakatikkiro abawummula okuli; John Baptist Walusimbi, Mulwanyammuli Ssemwogerere, Omubaka wa Paapa eyawummula Ssaabasumba Augustin Kasujja, abaaliko baminisita ba Kabaka, ababaka ba Palamenti, bannabyabufuzi n’abantu abalala.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK