donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Obwakabaka bujaguzza olunaku lw’abaana: eddoboozi ly’abaana mu nkulaakulana ya Buganda

Obwakabaka bujaguzza olunaku lw’abaana: eddoboozi ly’abaana mu nkulaakulana ya Buganda
Omuzaana Marion Nankya Wasajja nga awa obubaka bwa Nnaabagereka Sylvia Nagginda eri abaana n’abazadde.

Omuzaana Marion Nankya Wasajja nga awa obubaka bwa Nnaabagereka Sylvia Nagginda eri abaana n’abazadde.

Obwakabaka bwa Buganda bujaguzza Olunaku lw’Abaana wansi w’Omulamwa: Eddoboozi ly’Abaana lya Mugaso mu Nkulaakulana ya Buganda ey’Enkya.

Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda, ng’omugenyi omukulu, yatise obubaka eri abaana n’abazadde, okuyita mu Omuzaana Marion Nankya Wasajja. Obubaka bwe mwategeerezza nti abaana gwe musingi oguzimbibwako eggwanga.

Nnaabagereka yasinzidde ku mulamwa guno n’abuulirira abaana ba Buganda abato nti engeri gye balowoozaamu, enjogera yaabwe, n’enkola zaabwe bye bizimba ensi yaffe.

Abazadde basabiddwa okufaayo mu kuwagira abaana nga babawa obusobozi n’okubaggulirawo emikisa, kibasobozese okukula obulungi n’okwenyigira mu biseera by’ennaku zino ebitambulira ku nkyukakyuka.

Kino kiwalirizza okukola enkyukakyuka mu ndowooza z’abaana abangi abatambudde mu Kisaakaate, era ne bafuna obuvumu n’obukulembeze.

Abaana okuva mu masomero ag’enjawulo boolesezza ebitone byabwe mu kuyimba, okuweereza ku TV ne laadiyo

Abaana okuva mu masomero ag’enjawulo boolesezza ebitone byabwe mu kuyimba, okuweereza ku TV ne laadiyo

Minisita w’ebyobulungi bw’ensi, amazzi n’ekikula ky’abantu, Oweek. Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, yategeerezza abazadde nti abaana basinga okuyigira kwebyo bazadde baabwe bye bakola okusinga bye babagamba. Yasabye abazadde okukolera awamu n’abaana mu mirimu egy’enjawulo, ekintu ekiraga ekyokulabirako ekirungi.

Abaana baayolesezza ebitone byabwe mu kuyimba, okuweereza ku TV ne laadiyo, era n’abo abaliko obulemu baafunye omukisa ogwenkana okulaga bye bayinza okukola.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK