Omumbejja Bagaaya, Moses Banja Omulabirizi w'e Namirembe ne Bp. Reuben Kisembo Omulabirizi w'e Rwenzori.Nbagereka,nabambeja okuva mu Buganda
Omumbejja Bagaaya yakulirako mu Lubiri e Mengo ku mulembe gwa Kabaka Muteesa II era Maama we Abwooli Kezia yali wa mukwano nnyo ne Nnaabagereka Damalie Kisosonkole, nga kano ku bubonero akalaga enkolagana ennungi wakati w'Obwakabaka bwa Buganda n'Obukama bwa Tooro.
Nabagereka nga ayozayoza Omumbejja Bagaaya
Ono ajjukirwa nnyo olwokusitula ekifaananyi kya Uganda mu Nsi yonna, era nga ye munnayuganda omukyala eyasooka okufuna diguli mu mateeka ku Cambridge University, era yaliko Ambassador wa Uganda mu America, yali ne mu firimu ey'ebyafaayo emanyiddwa nga Sheena 'Queen of the Jungle' n'ebirala.
Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Abalangira, Abambejja, Omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule akiikiridde Katikkiro ne ba Minisita ba Kabaka beetabye mu mukolo gw'okujagulizaako omumbejja ku Serena Hotel.
Wasoose kubaawo okusaba ku kkanisa y'e Namirembe okukulembeddwamu Bp. Moses Banja Omulabirizi w'e Namirembe ne Bp. Reuben Kisembo Omulabirizi w'e Rwenzori.