donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Obwakabaka buguze emigabo mu Airtel

Obwakabaka buguze emigabo mu Airtel
Image

Oweek Katikkiro nga atongoza emigabo wamu ne Manoj Murali okuva mu Airtel

Obwakabaka buguze emigabo obukadde bubiri (2m shares) mu kampuni ya Airtel ng'emu ku nkola ey'okusiga ensimbi.

Mu kwogera kwe, Katikkiro agambye nti bangi balowooza nti okusiga ensimbi kwe kuzimba ennyumba z'abapangisa, saloon, oba taxi, naye n'okusuubula emigabo kulungi nnyo kubanga tolina kyeweeraliikirira nti oba onafiirizibwa.

Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Minisita webyensimbi n'okuteekerateekera Obwakabaka, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, agambye nti omukago gw'obwakabaka ne Airtel guvuddemu emiganyulo mingi omuli nokutumbula eby'obulamu nga bayita mu misinde gy'amazaalibwa ga Kabaka.

Ssenkulu wa Airtel Uganda, Manoj Murali, ategeezezza nti obuwumbi 8 obw'emigabo bwebuteereddwawo ku katale, buli mugabo gwa shs100.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK