Owek. Mukwenda, wakati mu kooti eya buluu, ng’akwasa Omwami wa Kabaka eggaali
Obwakabaka bwa Buganda bukwasizza abawereza ku mutendera gw’emiruka mu Ssaza lya Ssingo eggaali 100.
Egaali zino ziwereddwaayo Mukwenda Deo Kagimu eri abaami ba Ggombolola bano wamanga, mu mukolo ogwategekeddwa ku mbuga ya Ggombolola Mutuba III Bukomero.
Abafunye Eggaali kuliko:
- Bukomero Mutuba III
- Lwamata
- Kikandwa Mutuba VIII
- Muwanga Mutuba XI
- Ssabawaali Kapeke
- Butemba Mutuba II
- Wattuba
- Mulagi Mutuba IX
Abaami b’emiruka nga bafuna egaali ezabaweereddwa Obwakabaka
Bwabadde awaayo eggaali eri abaami ba Kabaka, Mukwenda yakubirizza nnyo ab’emiruka abafunye egaali zino okufaayo okutuusa amawulire eri abantu ba Kabaka era n’okubakunga mu nteekateeka z’obwakabaka ez’enjawulo.
Alabudde abenyigira mu kukumpanya ettaka lya Kabaka okwewala ebikolwa ebyo ebitali birungi. Mukwenda era yakubiriza abantu ba Kabaka okusimba n’okulabirira emmwanyi awatali kusa mukono.
Era ategezeeza abantu ba Kabaka mu Ggombolola ya Bukomero nti kabaka yabawadde Nursery School egeenda okuzimbibwa ku mbuga ya Ggombolola era etandike okukola mu 2025!
Omukolo guno gwetabiddwamu omumyuka asooka owa Mukwenda, Omwami Moses Tusuubira Nyombi; omumyuka ow'okubiri Omukyala Regiina Naseremba; wamu ne ba memba ku lukiiko olukulembeze olw’Essaza nga Omuwanika Richard Kyambadde, Ow’abakyala Owekitiibwa Agnes Nabulya Nkugwa, Omukubiriza w’olukiiko Omwami Nkotanyi, Ssamwiri Ssebitebe atwala eby’enjigiriza, era ne Mukyala Emily Lakhan Namutebi atwala ekitongole kya Bulungibwansi.