Obwakabaka bwa Buganda bwegasse ku b'Ennyumba okukungubagira Oweek Joyce Mpanga abadde omukiise omujjumbize mu lukiiko lwa Buganda olumala ebbanga eddene, omuntu ow'enkizo ennyo mu Bwakabaka era nnyina wa Minisita w'eby'ettaka n'ebizimbe Oweek David Mpanga.
Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro (akuuma Woofiisi ya Katikkiro mu kiseera kino), alonze akakiiko ak'enjawulo kakole enteekateeka ey'okusiibula omugenzi mu kitiibwa.
Akakiiko kakulirwa Oweek Patrick Luwaga Mugumbule, abalala kuliko, Oweek Ahmed Lwasa, ne Oweek Israel Kazibwe Kitooke.
Gutusinze nnyi ati Ssaabasajja, twakuumye bubi.
Israel Kazibwe Kitooke
Minisita w'Amawulire, Okukunga era Omwogezi w'Obwakabaka.