Emikolo gibadde mu Ssaza lye Kigulu, Namungalwe, e Iganga.
Obwakabaka bukiikiriddwa, Minisita wa Kabineeti, Olukiiko, Abagenyi, n'ensonga za Woofiisi ya Katikkiro, Oweek Noah Kiyimba, ne Oweek Hajji Amisi Kakomo Minisita w'Obulimi, Obwegassi, Obutale, N'Obuvubi.
Kyabazinga William Wilberforce Nadiope Gabula IV, mu bubaka bwe, akubirizza abantube okusimba emiti mu masomero, kkanisa, amalwaliro. Kino kijja kubayamba okukuuma obutondebwensi.
Abasabye balime emmere evaamu ensimbi basobole okuddukanya obulamu bwabwe obwa bulijjo, ate bafisseewo ne gyebanaalya.
Akubirizza abavubuka okwetaba mu busuubuzi, obulimi, okutumbula ebitone, basobole okutuusa Busoga ku ntikko.
Asiimye abaana abato olwokwagala ennono zaabwe, nti kino kijja kuyamba okunyweza obuwangwa n’ennono za Busoga mu biseera ebiriggya mu maaso.