donate

Choose Language

Luganda English

  
donate

Obumu mu maka, musingi gwa nkulaakulana

Obumu mu maka, musingi gwa nkulaakulana
Image

Ab’omu maka g’Omugenzi Yozefu Kalemba Ssajjabbi, bazukkulu ba Mbaziira okuva mu lunyiriri lwa Mungi abeddira Nnyonyi Nnyange, babadde mu kumanyagana kwe babadde nakwo e Masaka, Buddu

Minisita w’Amawulire n’Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka Oweek. Israel Kazibwe Kitooke akubirizza abantu ba Buganda okunyweza obumu okuviira ddala mu Maka gaabwe okusobola okwekulaakulanya.

Obubaka buno, Owek. Kazibwe abuweeredde mu maka g’Omugenzi Yozefu Kalemba Ssajjabbi, bazukkulu ba Mbaziira okuva mu lunyiriri lwa Mungi abeddira Nnyonyi Nnyange mukumanyagana kwebabadde nakwo e Masaka mu Buddu.

Minisita Kitooke avvumiridde okweyawulawula okususse ensangi zino, ky’agambye nti kikosa enkulaakulana olwa buli omu okusigala ku lulwe, ne watabaawo kuwabulaŋŋana.

Ono era asabye abantu okutambulira mu buufu bwa Ssaabasajja nga bw’azze akubirizza Obumu mu bantu be, babunyikize okuviira ddala mu maka, mu Bika, ku Byalo na buli kimu kye bakola okusobola okwekulaakulanyiza awamu.

Ye Katikkiro w’Ekika kya Nnyange, Omutaka Kato Lutuuma Fenekansi asinzidde wano n’akubiriza abazzukulu obutetundako ttaka, wabula balikozese okwekulaakulanya naddala nga bajjumbira okulima emmwanyi ng’enteekateeka y’Obwakabaka bw’erambika.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK