Kabaka Ronald Muwenda Mutebi
Enteekateeka z’okujaguza amatikkira ga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ag’omulundi ogwa 31 ziri mu ggiya ya waggulu.
Ebbanga lyonna, Kabaka azze atukubirizza okubeera obumu, era ne mu kujjukira Amatikkira ge omwaka guno, essira liteereddwa ku Bumu.
Omulamwa gw'Amatikkira guli nti:
Obumu bwaffe, ge maanyi ga Nnamulondo.