Maama w'Omukama, Best Kemigisha, n'Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru
Ku mukolo guno oguyindidde mu Lubiri lw'Omukama e Karuziika mu kibuga Fort Portal, obwakabaka bwa Buganda bukiikiriddwa Omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda, Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule, ne Minisita wa Bulungibwansi n'obutondebwensi n'ekikula ky'Abantu, Oweek. Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, omubaka wa Kabaka mu Ssaza Rwenzori, Oweek Samuel Ssempeebwa Mukiibi n'Olukiiko lwe.
Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule ngalamusa Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV
Oweek. Mugumbule agamba nti kikulu nnyo okunyweza enkolagana n'obukulembeze bw'ennono obwenjawulo kubanga empisa n'obuweereza bufaanagana nga byonna bigendereddwamu okukulaakulanya abantu naddala abavubuka.
Mu kwogerako eri abantube, Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV, asabye abantu be Tooro okukuuma ettaka lyabwe baleme kulitunda era beewale okuwuliriza ebigambo bya bannakigwanyizi ebiwubisa abantu nti Obukama bwa Tooro bugenda kubasenda ku bibanja byabwe, era kino akiwakanyizza wabula n'asaba abantu okubeera obulindaala banyweze obusenze ku ttaka ly'obwakabaka.
Omukolo gwetabiddwako abagenyi abenjawulo, era bonna baweze okutambulira ku bigambo bya Omukama byabakalaatidde.