sabalamuzi nga ali ne katikkiro wa Buganda ku high court
Obuganda bwakuwagira enkola yokugonjoola emisango egy'ennono.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akakasizza ekitongole ekiramuzi nti Obuganda bwakuwagira ekirowoozo ky'ekitongole ekiramuzi ekyokugunjaawo enteekateeka zokutuusa obwenkanya mu bantu nga bakozesa enkola ezabulijjo Okusinziira mu bitundu eby'enjawulo.
Kamalabyonna bino abyogeredde ku kkooti ensukkulumu mu Kampala bwabadde mu nsisinkano ne ssaabalamuzi Alphonse Owiny Dollo okwewa ku magezi ku ngeri ki esaanidde okutuusa obwenkanya mu bantu awatali kukandaalirira nnyo nakwetawula mu mbuga z'amateeka.
Katikkiro ne sabalamuzi wamu ne baminisita okuva e Mengo
Ssaabalamuzi Alphonse Owiny Dollo ategeezezza nti kye kiseera Uganda nayo okukozesa ku nkola nga ey'ekitaawuluzi, okuzza obuggya kkooti z'ebyalo, okuteesa n'ebirala okusobola okugonjoola emisango.
Ensisinkano eno emaze esaawa ezisukka mu bbiri nga tekiriziddwamu Bannamawulire yetabiddwamu ne Ssaabawolereza w’Obwakabaka Owek. Christopher Bwanika kko n'omwogezi wObwakabaka era Minisita w'Amawulire n'Okukunga Oweek. Israel Kazibwe Kitooke.