
Katikkiro obubaka buno abuweeredde mu kkanisa ya St. Francis Chapel e Makerere University bw’abadde yetabye ku mbaga ya Constance Nagawa Ssentongo ne Calvin Atuhairwe abakubye ebirayiro nga bagattiddwa Rt. Rev. Johnson Twinomujuni.
Katikkiro Mayiga agamba nti emmotoka ez’ebbeeyi oba ennyumba ennene ssi bye bireeta essanyu mu bufumbo wabula ekikulu be baagalana okubeera n’obwesigwa, obukakkamu, okuwuliziganya n’okussinganamu ekitiibwa.
“Obufumbo tebwetaaga binene, ebinene nabyo birungi, kyokka obuntu obutono bwetusaana okussaako omwoyo, anti emmeeme entebenkevu y’ereeta omukwano, kale abafumbo obuntu obutono mubefeeko nnyo ebinenene bijja kujja byokka” – Katikkiro Mayiga

Rt. Rev. Johnson Twinomujuni aggasse abagole bano bakubirizza okumanya nti obufumbo lugendo era nkolagana kyokka abalutambula balina kusinga kumanya nti obufumbo kusalawo kwa Katonda. Bwatyo abasabye buli kiseera okwekwatanga Katonda kubanga okusobola okuyita obulungi mu mbeera zonna naddala ez’okusoomoozebwa.
Rev. Twinomujuni bano abakubirizza buli omu okwenyumiriza mu munne, era okukijjukiranga nti newankubadde bagattiddwa wabula bantu banjawulo nga ne bwe beesanga nga waliwo webesanze nga tebakkanyiza balina okuwuliziganya obulungi okutuuka ku kukkirizigana. Abakuutidde okumanya nti ku bonna tekuli malayika wabula bantu era mu biseera ebyenjawulo basobola okukola ensobi, kyokka kikulu, okugumiikirizigana, okusonyiwagana obufumbo buwangaale.
Omukolo gwetabiddwako Omulangira David Kintu Wasajja, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, Abooluganda n’emikwano.