
Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II
Ssaabasajja Kabaka asibiridde abantu be abali mu America ne Canada abeetabye mu lukungaana lwa Buganda Bumu North American Convention 2025, entanda.
Obubaka bwa Kabaka busomeddwa Katikkiro mu lukungaana olutudde ku Omni Boston Hotel mu kibuga Boston mu Ssaza New England.

