Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’ayogerako eri Obuganda, butereevu ng’asinziira mu lubiri lwe, ku mikolo egitegekeddwa mu lutikko e Namirembe, okwebaza Katonda olw’obulamu bwe n’okujaguza okuweza emyaka 31 ng’atudde ku Nnamulondo alamula Obuganda.
Obubaka bw’Omuttanda mu bujjuvu
Tuli basanyufu nnyo ddala okutuuka ku lunaku luno kwetujjuukirira n’okujaguza Amatikkira ga Kabaka ag’omulundi ogwa 31.
Twebaza Katonda olw’obulamu bwatuwadde n’obujjanjabi bwetufunye okuva mu nsi ez’enjawulo.
Twebaza abasawo olw’obujjanjabi ate era nga bakyatujjanjaba.
Wewaawo obulamu bwaffe bweyongedde okutereera, naye olw’embeera n’ebiragiro by’abasawo, tetusobodde kubeegattako nga bwegubeera bulijjo.
Twebaza Omulabirizi w’e Namirembe; Moses Bbanja, Dean wa Lutikko n’abaweereza bonna abakulembeddemu okusaba kuno.
Newankuwabadde tetubaddeewo nga tuli ebweru mu kujjanjabibwa, ebintu byonna ebibaddewo tubadde tubigoberera bulungi.
Olugero olugamba nti “Enkuba eryokanga n’etonnya netulaba ensiisira bwezenkanya emyoyo”, olugero olwo lutuukiridde bulungi.
Bulijjo tubakuutira okwegatta okukuuma n’okussa ekitiibwa mu nnono n’empisa zaffe, wano omulabe waayinza okuyita ssinga tugayaalirira ensonga zino.
Embeera gyetuyiseemu mu myezi egiyise, eviiriddeko abantu abamu mu butamanya oba mu bugenderevu, okuvvoola n’okumenya empisa y’ensi n’okweyisa mu ngeri etasaanidde.
Bakoze ebintu bingi okuwubisa abantu baffe ebikwata ku Nnamulondo n’Obwakabaka, kino kya bulabe ddala, abantu abo musaana okubeegendereza ddala!
N’olwensonga eyo, tujjukiza abantu baffe ensonga zino; Ekisooka; Kabaka alina emisoso n’enkola egobererwa ng’atuula ku Nnamulondo era Kabaka talondebwa Abataka abakulu ab’obusolya.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II
Abataka ab’enkizo bamanyiddwa bulungi, nabo beemanyi era bamanyi n’obuvunaanyizibwa bwabwe.
Ensonga eyookubiri; Kabaka alamula Obwakabaka ng’ayambibwako Katikkiro, ye Kabaka yennyini gwaba yeerondedde era Kabaka taba na musigire.
Ensonga ey’okusatu: Mu nnono zaffe Kabaka alina eddembe okuteekawo oba okudibya empisa ezimu okusinziira ku mulembe nga bwegubeera.
Twebaza abantu bonna n’okusingira ddala abavubuka baffe abo bonna abali emitala w’amayanja olw’omukwano n’obuwulize eri Nnamulondo. Kisaanidde omukwano ogwo gukuumibwe era gulagibwe nga mulimu empisa n’obuntubulamu nga bwekimanyiddwa okuva edda n’edda.
Twebaza abantu bonna abeetabye mu kusaba kuno era netusiima nnyo omulimu ogukoleddwa abateesiteesi.
Mukama abeere nammwe, nsanyuse nnyo okubabuuzaako!