Ssabasajja Kabaka nga awabubakabwe
Mbalamusizza abantu baffe mwenna. Nze Ssaabasajja Kabaka nga nsinziira wano wetwajja okuwummulako nokujjanjjabibwa nga tugendera ku magezi g'abasawo nga bwegatuweebwa.
Tubadde tumaze akabanga nga tetubawulizaako nga tugoberera ebiragiro by'abasawo ebyatujja ku mirimu egisinga obungi.
Embeera y'obulamu bwaffe egenda etereera era tusuubira okudda ku butaka mu biseera ebitali bya wala nnyo. Twebaza Katonda atukuumye era nobuganda olwokutusabiranga bulijjo ate nobutaggwaamu ssuubi wakati mu kusomoozebwa okwamaanyi ddala.
Twebaza Katikkiro Baminisita n'abaami ba Kabaka bonna olwokusigala nga batambuza emirimu gyobwakabaka mu kiseera nga tetuli mu nsi.
Ebigenda mu maaso byonna tubigoberera era twebaza Obuganda olwobujjumbize ku mirimu gyobwakabaka. Twebaza abantu baffe abagoberedde empisa, obuwangwa, ennono, nobulombolombo mu kiseera kino ekizibu ddala.
Nga bwetutera okwogera bulijjo amaanyi gaffe gali mu kwegatta, tukubiriza abantu baffe okusigala nga bali bumu.
Mukama abakuume.