
Owek. Joel Ssenyonyi ng’alamusa Katikkiro mu nsisinkano
Ab’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) beetabye mu kaweefube w’okulwanyisa mukenenya nga bagula emijoozi egya bukadde 15 mwe banaddukira emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka.
Emijoozi gye baguze, Kamalabyonna Charles Peter Mayiga agikwasizza akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti era omwogezi w’ekibiina kino, Hon. Joel Ssenyonyi, mu musomo ogubadde ku Bulange.
Nga agibakwasa, Katikkiro yasabye abakulembeze b’ekibiina okubeera ab’obuvunaanyizibwa mu nneeyisa yabwe nga bannabyabufuzi, naddala ebitundu gye batambulira. Yabakuutidde okutwala obuvunaanyizibwa mu kwegemesa n’okutaasa abagoberezi baabwe obutakwatibwa mukenenya.
Owek. Mayiga era yavumiridde ebikolwa ebityoboola eddembe ly’obuntu ebyalabikira mu kalulu ke Kawempe, n’agamba nti ebyo byongera kuvumaganya Gavumenti kubanga akalulu ssi kakufiirawo era tekirinamu muntu yenna kufiira.
Omwogezi wa NUP, Hon. Joel Ssenyonyi, yasuubizza okweyongerayo mu kaweefube w’okulwanyisa mukenenya n’asaba Gavumenti okutumbula embeera z’abasawo nga bawebwa omusaala omulungi, era n’okuteeka eddagala mu malwaliro okutaasa obulamu bw’Abantu abangi abafa olw’obulagajjavu.

Abakulembeze ba NUP, Katikkiro, n’abakungu b’Obwakabaka nga beenyigidde mu kifaananyi ekya wamu
Minisita w’Obwakabaka, Owek. Noah Kiyimba ne Israel Kazibwe Kitooke, nabo beetabye mu nsisinkano eno.
Abakulembeze ab’enjawulo mu NUP okuli Hon. Muwanga Kivumbi, David Lewis Rubongoya, Hon. Patrick Nsanja, Hellen Nakimuli, Abubakar Kawalya, Flavia Nabagabe, n’abalala bawerekeddeko Hon. Joel Ssenyonyi, era bawadde obubaka obwebaza Ssaabasajja Kabaka olw’okufaayo ku bulamu bw’Abantu be.