Nnalinya Agnes nga atongoza ekifo ky'ebisiige kyeyatadewo
Nnaalinya Agnes Nabaloga atandiseewo ekifo ewolesezebwa ebisiige nga kino kisangibwa mu maka g'ekitongole ky'Ebyobulambuzi mu Buganda ki Buganda Heritage and Tourism Board.
Ekifo kigguddwawo Nnaalinya Dorothy Nassolo olweggulo lwa leero, ku mukolo ogwetabiddwako Abalangira n'Abambejja, Katikkiro Charles Peter Mayiga n'Omumyuka we Owookubiri, Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa, ba Minisita ba Kabaka, n'abantu abalala.
Kino kye kizimbe kya Art Gallery
Katikkiro asinzidde wano n'ategeezeza nti omulimu gw'okusiiga ebifaananyi gusaana kuwagirwa nnyo kubanga abagukola bateekamu obuyiiya n'olwekyo basaana okuweebwa omukisa okwolesa n'okufunira bye bakola akatale, bwatyo ne yeebaza Nnaalinya.