
Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga nga aggalawo olusirika lw’abaweereza mu kitongole ky’abagenyi mu Bwakabaka
Obwakabaka bwa Buganda buleese okweraliikirira olw’okukendeera okweyoleka mu mpisa z’okussa ekitiibwa n’empisa ezaawulwamu Abaganda.
Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga ategeezezza nti ekirabo ky’obuntubulamu mu Baganda kiri mu musaayi. Naye olw’okuba waliwo abantu bangi abatuyingiddemu nga balina empisa n’enneeyisa ezaabwe, Abaganda batandise okuddirira mu mpisa zaabwe ezibaawula ku balala.
Asinzidde wano n’asaba abantu ba Kabaka nti newankubadde balina okukolagana n’Abantu bano, basaanye okukuuma empisa z’Abaganda entuufu nga bawanirira ekifaananyi ekirungi eky’Obwakabaka.
Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga, okwogera bino, abadde aggalawo olusirika lw’abaweereza mu kitongole ky’abagenyi mu Bwakabaka olukulungudde ennaku bbiri ku kitebe ky’ebyobulambuzi e Mmengo.
Yebazizza abaweereza bano olw’okwewayo ne batuukiriza obuvunaanyizibwa obwabaweebwa, era n’abasaba basse ebibasomeseddwa mu nkola.
Minisita w’Olukiiko, Kabineeti n’ensonga za Woofiisi ya Katikkiro, era avunaanyizibwa ku by’Abagenyi, Oweek. Noah Kiyimba, ategeezezza nti baategese omusomo guno n’ekigendererwa eky’okukuuma kitiibwa kya Namulondo nga kirina kutandika mu baweereza abatambulirako ensonga z’emikolo gy’Obwakabaka.
Aloopedde Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga nti eby’Abagenyi mu Bwakabaka kati biri ku ddaala lya Nsi yonna, kubanga basobodde okukyaza abagenyi ab’amaanyi ku Bulange abalaga okusiima kwabee olw’ennyaniriza ennungi ebaweereddwa.
Awadde eky’okulabirako eky’abagenyi okuva mu bukulembeze bwa Rwenzururu, ab’ebyokwerinda okuva mu ggye ly’e Zimbabwe n’abalala, n’agamba nti kikulu nnyo okuteekateeka abaweereza okwetegekera embeera ng’eyo.
Mu kusooka, abaweereza bafunye omusomo ku kwogera mu bantu, n’ensengeka y’ebigambo ebitambulira ku mulamwa ogw’omukolo ogwo.
Omukungu David Ntege, akulira ekitongole ky’Abagenyi mu Bwakabaka, alambise abaweereza ba pulotoko ku nnyambala, enneeyisa, enjogera, obuyonjo n’enkolagama n’abantu be baweereza.