Nnaabagereka Sylvia Nagginda (ku kkono) atongoza kaweefube w’Obuntubulamu wamu ne Minisita Betty Amongi (ku ddyo)
Omukolo gubadde ku Sheraton Hotel mu Kampala. Nnaabagereka agambye nti enteekateeka eno egendereddwa okutumbula empisa mu bavubuka n’abantu bonna awatali kusosola mu mawanga, era egenda kutambula mu ggwanga lyonna, bw’atyo asabye abantu bonna okugijjumbira.
Okwewala emize okuli: obulyi bw’enguzi, obubbi, obukumpanya, obulyake, obulabayi, okukola efujjo, obutabanguko mu maka, okusanyawo obutonde bw’ensi, n’emize emirala mingi.
Enteekateeka eno egenda kutambulira mu kitongole kya Nnaabagereka Development Foundation. Government eyawakati esuubizza okuyambako Nnaabagereka enteekateeka eno eveemu ebibala.
Mu bubaka bwa Omumyuka wa Pulezidenti Retired Maj. Jesca Alupo, obwasomeddwa Minisita w’abakozi, ekikula ky’abantu n’enkulakulana y’abantu Betty Amongi, yagambye nti ebizibu ebisinga okukosa eggwanga mu kiseera kino, omuli obubbi, obulyi bw’enguzi, obukumpanya, obutemu, n’ebirala, bivudde ku bantu okulemererwa okuba n’obuntubulamu.
Omukolo gwetabyeko abakungu bangi ddala
Omukolo guno gwetabyeko abantu bangi, nga mwabaddeko Minisita Omubeezi owa Teknologiya n’ebyuma bikalimagezi, Owekitiibwa Joyce Nabbosa Ssebuggwawo.
Omumyuka ow’okusatu owa Katikkiro we Japadhola, Ursher Wilson Owere, era ng`ono yavunanyizibwa ku bitundu okuli Wakiso, Ntebbe, Mukono nebitundu ebirala wano mu Buganda, yagambye nti bo nga abakulembeze abennono bagenda kufuba okubunyisa enteekateeka eno ey’Obuntubulamu.
Akikirira United Nations Development Programme (UNDP) mu Uganda, Nwanne Vwede Obahor, agambye nti bakukwatagana ne Nnaabagereeka okulaba ng`enteekateeka eno ey`Obuntubulamu ebuna mu ggwanga lyonna n’ensi yonna okutwaliza awamu.
Obuntubulamu bunyonyolwa ennyingo nga: obwerufu, obwetowaze, obuyonjo, amazima, obuvunaanyizibwa, okwewaayo n’endala.