donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Nnaabagereka atongozza kaweefube w’okusonda ensimbi okulwanyisa obulwadde obuva ku bwongo – mu nkola etuumiddwa Queen’s ball

Nnaabagereka atongozza kaweefube w’okusonda ensimbi okulwanyisa obulwadde obuva ku bwongo – mu nkola etuumiddwa Queen’s ball
Image

Nabagereka wakati nga ali nabakya abenyigidde muntekateeka eno

Nnaabagereka Sylvia Nagginda atongozza kaweefube w’okusonda ensimbi Ókulwaanyisa endwadde zémitwe mu bannauganda.

Enteekateeka ya Nabagereka ey'okuyamba abantu abatawanyizibwa obulwadde obuva ku bwongo, etongozeddwa ku Serena hotel mu Kampala ,mu nkola etuumiddwa Nabagereka Fund, Queen’s Ball.

Omukolo gwokusonderako ensimbi zino gwetabiddwako abantu bangi ddala, ebitongole, n’abeekitiibwa n'abakungu ab'enjawulo.

Katikkiro mu kwogera kwe eri abantu abeetabye mu kijjulo kyokusonderako ensimbi z'okudduukirira abantu abalina obuzibu ku bwongo, agambye nti ekirabo ekisinga okuba ekyomuwendo bwe bulamu, omuntu kyasinza ebitonde ebirala bwe bwongo obutusobozesa okumanya ebyo ebitugasa wamu nokwawula ekituufu ku kikyamu.

Obwongo bwebutusobozesa okufuga ebitonde ebirala, n'olwensonga eyo obwongo kyekimu ku bitundu ebisinga okuba ebyenkizo ku bitundu byomubiri gwaffe.

Ensonga y'obulwadde bw'omutwe ekosa engeri obwongo bwaffe gyebwawulamu ensonga zetusanga olwo netusobola okumanya kyetusaana okukola, obungi mwetusaana okukikolera n'ekifo wetukolera ekintu ekyo.

Image

Omumyuka wa Sipiika wa palamenti ya Uganda, Katikkiro n'omukubiriza wolukiiko lwa Buganda nabo babadewo

Agamba nti olutalo lwe tuliko lwa kuzza Buganda ku ntikko era lwetaaga abantu abalamu obulungi naddala aboomutwe ogukola obulungi, bakole ebyo ebibagasa era ebibazimba, balabirire aboomu maka gaabwe era bagase ebitundu byabwe eyo gyebabeera.

Mu nsi ezikyakula nga Uganda tetulina science wa maanyi atuyamba okutegeera endwadde enkumu ezitulumba, era mu Uganda n'Ensi za Africa abalwadde b'emitwe balowoozebwa okuba nti baabaloga oba batambulirako empewo.

Tusuubira enteekateeka eno ereeteddwa Nnaabagereka, egya kutuyamba okutunuulira obulwadde bw'Omutwe, okwekeneenya ekibuleeta ate nokubufunira enzijanjjaba entuufu.

Omulabirizi Banja nga abuuza ku Nabagereka

Omulabirizi Banja nga abuuza ku Nabagereka

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK