
Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda atongoza Ekijjulo kya Nnaabagereka 2025 e Bulange, Mengo
Nnaabagereka Sylvia Nagginda atongoza ekijjulo kya ‘Queens Ball’ eky’omwaka 2025, ng’asaba Gavumenti okwongera ku malwaliro agajjanjaba abalwadde b’emitwe. Agamba nti kino kijja kuyamba abantu abafuna obuzibu buno okufuna obujjanjabi obugwanidde.
Okusaba kuno akukoledde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna, n’akuutira Bannayuganda okwagala n’okuyamba abo abalina obuzibu ku bwongo. Agamba nti kino kijja kuyamba okukendeeza ku muwendo gw’abantu abafuna embeera eno.
Abantu bangi bagisirikira
Nagginda agambye nti obulwadde bw’emitwe bukosa abantu bangi kyokka abamu tebasobola kwogera ku buzibu bwabwe, ate abalala tebamanyi nti balina ekizibu. Asabye abantu okwewala okusosola abalina obulwadde buno n’okubalaga omukwano.
Agasseeko nti enteekateeka y’ekijjulo kino eriwo okuyamba mu:
- Okumanyisa abantu ebikwata ku bulwadde bw’emitwe
- Okugatta amaanyi okulwanyisa embeera eno
- Okusonda ensimbi ez’okuyambako mu bujjanjabi bw’abalina obuzibu ku bwongo
Gavumenti eyongere okutumbula obujjanjabi
Minisita w’ebyobulamu, embeera z’abantu wamu ne woofiisi ya Nnaabagereka, Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, agambye nti ekijjulo kino kigenderera okuggyawo okutya okwogera ku bulwadde bw’emitwe. Agamba nti kino kijja kwongera amaanyi mu kumanyisa abantu n’okuleeta enkyukakyuka.

Nnaabagereka Nagginda ne ‘Nnaabagereka Nagginda Women’s Fund’ nga bali wamu
Akulira eddwaliro ly’e Butabika, Dr. Juliete Nakku, ategeezezza nti okuva ekirwadde kya COVID-19 bwekyalumba eggwanga, omuwendo gw’abafuna obuzibu ku bwongo gweyongedde nnyo mu bavubuka. Agambye nti ebibalo biraga nti ku buli bantu bana, omu aba alina obukosefu ku bwongo.
Okunonyereza okwakolebwa Minisitule y’ebyobulamu n’eddwaliro ly’e Butabika kulaga nti ebitundu 30% by’abaana abali mu masomero balina embeera etali ntebenkevu mu bwongo bwabwe. Kino kiviriddeko abamu mu bavubuka okwetusaako ebikolwa eby’okwegya mu bulamu.
‘Queens Ball’ Efunye obuwagizi obw’amaanyi
Ssentebe wa Nnaabagereka Fund, Suzan Lubega, agambye nti ekijjulo kya ‘Queens Ball’ kya kubeerawo ku Sunset Terrace – Speke Convention Center e Munyonyo ku 2/05/2025. Omulamwa gw’omwaka guno gugamba nti “Obujjanjabi bw’ebirowoozo.”
Bannamukago ab’enjawulo, nga I&M Bank, Plascon, n’abalala, bavuddeyo okuwagira enteekateeka eno. Kigambibwa nti obuyambi buno bw’akwasaganya abantu bangi okukwatira awamu okulaba nga abalina obuzibu bw’emitwe bafuna obujjanjabi obwetaagisa.