Nnabagereka nga ayogerako eri abatto.
Maama Nnaabagereka alambudde abasaakaate ku ssomero lya Hormisdallen e Gayaza okulaba byebakola n'okubaako byabayigiriza ebinaabayamba mu ntambuza y'obulamu bwabwe mu biseera eby'omumaaso.
Mu kulambula kuno, Nnaabagereka abadde wamu ne Mw. Mukalazi Kizito Hormisdasc omutandisi w'essomero lino, bboodi ya Nnaabagereka Development Foundation, n'abagunjuzi ab'enjawulo
Wano Nnabagereka yabadde atuuka ku ssomero lya Hormisdallen e Gayaza.
Nnaabagereka alambudde ebintu abaana byebakola okusinziira ku myaka, obusobozi, n'ebitone byabwe omuli okuwandiika, okusoma ebya tekinologiya, okufumba, okulima, okuluka eby'emikono, eby'emizannyo, amazina n'okuyimba.
Nnaabagereka yebazizza abatandisi b'essomero lino olw'okukolera awamu ne Nnaabagereka Development Foundation okutegeka ekisaakaate eky'omulundi ogwe 17 ekyetabiddwamu abaana abasoba mu 500.
Nnabagereka nga agezaamu omuza nnyo gwa wood ball na abasaakaate.
Era yeebazizza bannamikago abayigirizza abaana ku by'ensimbi, tekinologiya, omutimbagano n'enkozesa yaagwo entuufu. Agambye nti kikulu nnyo abaana okumanya nti ssi buli kintu ekiri ku mutimbagano nti kirungi, mu kino bafunamu empisa y'obuntubulamu nti bwebeekakasa ekyo kyebalina okubeera sikyangu kubakyamya abo abalina emize emibi.
Nnaabagereka asomesezza abaana ku kabi akali mu kukozesa ebiragalalagala, n'abategeeza nti ebiragalalagala bikosa obulamu bwabwe ate biviirako omuntu okulemererwa okusoma olwo eggwanga nerifiirwa emigaso egyandivudde mu muntu oyo.
Ekisaakaate kya kuggalwawo nga 20 Gatonnya 2024.