Nnaabagereka Sylvia Nagginda ng’awa obubaka okukulu ku Lutikko ya St. Paul’s Cathedral e Kako
Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda yasinzidde ku Lutikko ya Paulo Omutuukirivu e Kako, mu Masaka – Buddu, ku mukolo ogw'okutuuza ba Canon, Abadiikoni, Abaawule, n'Abakadde b'Ekkanisa mu Bulabirizi bwa West Buganda, n'aweereza obubaka obukulu eri abaweereza ba Mukama.
Nnaabagereka akuutidde bannaddiini abaawuddwa mu buweereza okukubiriza abantu okubunyisa enjiri y'obuntubulamu nga babuulira Ekigambo kya Katonda. Agambye nti obuntubulamu kyogerwako nnyo mu bitabo ebitukuvu kubanga birimu amazima, okwagala, obulokozi, n’obumu.
Bw'ebannaateekateeka abantu okubeera n’ebirowoozo bino, kijja kwongera okukyuusa embeera z’abantu n’okukendeeza ebikolwa ebikyamu.
Agattiddwaako okusaba bannaddiini okweyongera okukwatirako abantu ba Katonda mu Masaka okwefaako mu by’enkulaakulana, naddala okulima emmwanyi. Nnaabagereka agambye nti Masaka kimanyiddwa nnyo olw’okukulaakulana okw’emmwanyi, nga bwebanaakola ekyo bajja kugoba obwavu n’enjala mu maka gaabwe.
Nnaabagereka yebazizza Omulabirizi wa West Buganda, Henry Katumba Tamale, olw’omulimu omulungi gw'akoze mu kitundu kino. Agattiddwaako okumwogerako ng’omuntu eyakulambulako abantu mu kiseera kye, ng’akolera awamu n’enzikiriza endala awatali kusosola mu mawanga. Eby’okukubiriza abantu okulima emmwanyi n’okweyimirizaawo birina akakwate ku kukulaakulana kw’abantu mu kitundu kya West Buganda.
Omulabirizi Katumba Tamale alaze okwewaayo ng’ekyokulabirako mu kuweereza Katonda, era Nnaabagereka amwebazizza olw’obuweereza bwe obutajjukirwa mu Bulabirizi bwa West Buganda
Omulabirizi Henry Katumba Tamale ku mukolo guno, yawadde abaweereza abatuuziddwa ku buweereza obw’enjawulo obuvunaanyizibwa, n’abasaba okusigala nga bakola omulimu gwabwe n’obwesigwa. Abasabye okwewala eby’obudomola era basigale nga babunyisa Ekigambo kya Katonda eri abantu ba Katonda.
Mu batuuziddwa, Rev. Canon Cranimer Ssempeebwa yatuuziddwa ku bwa Provost w’obulabirizi buno.
Omukolo guno gwetabiddwaako abantu ab’enjawulo, omuli:
- Namasole Damalie Nantongo
- Omutaka Mugema Charles Nsejjere
- Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitooleko n’Omukyala
- Ppookino Oweek. Jude Muleke
- Omukwanaganya w’Essaza Kooki Oweek. Gertrude Ssebuggwawo
- N’abakulembeze mu biti eby’enjawulo.