donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Nnaabagereka agguddewo ‘Ekisaakaate International Schools’ ku Kabojja International

Nnaabagereka agguddewo ‘Ekisaakaate International Schools’ ku Kabojja International
Nnaabagereka ayanirizibwa abaana abetabye mu Ekisaakaate e Kabojja

Nnaabagereka ayanirizibwa abaana abetabye mu Ekisaakaate e Kabojja

Nnaabagereka Sylvia Nagginda agguddewo mu butongole ‘Ekisaakaate International Schools’ ku Kabojja International Schools e Buziga.

Nnaabagereka Nagginda bw’atuuse ku ssomero lino ewakubiddwa enkambi y’Abasaakaate, asoose okulambuzibwa ebifo eby’enjawulo okuli ebisulo n’ebibiina by’abayizi. Oluvannyuma asisinkanye Abasaakaate ne bamulaga ebyo bye basomye okuva lwe kyatandika nga 3 Kasambula. Bano basabye okussa mu nkola byonna ebibasomesebwa, naddala okukozesa obulungi emitimbagano n’okwewala ebiragalalagala.

Nnaabagereka asinzidde eno n'akubiriza abazadde okuyigiriza abaana baabwe ennimi ezaaliranwa kibayambe okumanya n’okunyweza obuwangwa n’ennono nga bakyali bato. Yebazizza obukulembeze bwa Kabojja International olw’okukyaza Ekisaakaate ky’omwaka guno eky’abaana abasomera mu masomero agali ku nsoma y’omutendera gw’Ensi yonna.

“Kikulu nnyo abaana okumanya ennimi zaabwe. Kirungi bayige ennimi ezisukka mu lumu. Newankubadde bayiga Oluzungu, kyokka kirungi abazadde okubalungamya okuyiga ennimi endala, naddala ezaabwe enzaaliranwa,” Nnaabagereka.

Nnaabagereka ali n’olukiiko oluteesiteesi e Kabojja

Nnaabagereka ali n’olukiiko oluteesiteesi e Kabojja

Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu era avunaanyizibwa ku Woofiisi ya Nnaabagereka agamba nti enteekateeka eno ey’Ekisaakaate emaze emyaka 18 eyambye abaana b’Eggwanga mu mpisa n’okubawa obusobozi okwekulaakulanya.

Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Hon. Hajji Ahmed Lwasa, alaze essanyu olw’omukisa gwe baafunye okukyaza Ekisaakaate. Agambye nti enteekateeka eno nnyangu nnyo eyamba mu kuteekateeka abaana b’Eggwanga era akunze abantu buli lwe bawulira Ekisaakaate okugijjumbira.

Hon. Fred Kabuye Kalungi okuva National Drug Authority, ekimu ku bitongole ebyawadde abaana emisomo ku biragalalagala, yebazizza Nnaabagereka olw’okulaba nti abaana bafuna obulombolombo obubagunjula mu mpisa ne mu bintu bye batayinza kufuna mu bibiina byabwe.

Mu Ekisaakaate, abaana bagunjulwa mu mpisa ez’obuntu bulamu, okukolagana n’abalala, eby’emikono ng’okukola kkeeki, okuluka ebibbo n’ebirala, era ne mizannyo egy’enjawulo ng’okuwuga, omupiira, okubaka n’ebirala.

Ekisaakaate kino ekyatandika ku Lwokuna nga ssatu Kasambula, kikomekkerezebwa ku Lwomukaaga lwa sabiiti eno nga kkumi n'abiri.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK