
Minisita Serwanga nga alumusa abazannyi. Ayingiddeko mu kisaawe n’alamusa abazannyi ng’omupiira tegunnatandika
Wankulukuku – Emizannyo gy’Ebika mu mupiira ogw’ebigere gituuse ku mutendera gwa luzannya oluddirira olw’akamalirizo, oluvannyuma lw’emipiira egibadde egy’akaasameeme mu kisaawe e Wankulukuku ne WAKISSHA.
Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone, Owek. Robert Serwanga, akoowodde Obuganda okujjumbira ekiragiro kya Ssaabasajja Kabaka eky’abazzukulu okuwagira Ebika byabwe.
Yawadde obubaka buno ng’asinzidde mu kisaawe e Wankulukuku, bw’alaba omupiira wakati wa Mmamba Kakoboza ne Nseenene.
Asinzidde mu kisaawe e Wankulukuku gy’alabidde omupiira wakati wa Mmamba Kakoboza ne Nseenene.
Minisita Serwanga yebazizza Ebika byonna ebyetabye mu mizannyo gy’Ebika omwaka guno, era agamba nti ebbugumu lyeyongedde kati, naddala nga n’oluzannya olw’akamalirizo mu mupiira ogw’ebigere lusembedde.

Abazannyi mu layini – Ttiimu zisimbye ennyiriri nga bayimba oluyimba lwa Buganda ng’omupiira tegunnatandika.
Minisita Serwanga yebazizza abawagizi abajjumbidde okulaba emizannyo gy’Ebika, era akowoodde abazukkulu okwongera okuwagira Ebika, n’abo abavuddemu ate okubaako Ebika bye beekwatako babiwagire okutuusa nga omuwanguzi afunise nga 07/06/2025.
Emizannyo 4 egibaddewo olunaku lwa leero giwedde bw’egiti: Ngabi Nsamba 4–1 Ngabi Nnyunga, Kkobe 4–2 Ngo, Omutima Omusagi 0–2 Ndiga, Mmamba Kakoboza 1–2 Nseenene.
Oluvannyuma lw’ezannya zino, ttiimu z’Ebika bina (4) ze ziyiseewo okwesogga oluzannya oluddirira olw’akamalirizo: Ngabi Nsamba, Kkobe, Ndiga ne Nseenene.
Bazzukulu ba Nsamba tosobola kubabuusa maaso kweddiza Ngabo ya mwaka guno, kubanga emipiira gyonna gye basambye omwaka guno bakoledde ddala bulungi.