Omugenzi ye taata w’Oweek. Joseph Kawuki, Minisita Omubeezi owa Gavumenti ez’Ebitundu n’Okulambula kwa Ssaabasajja Kabaka, ate n’Omuk. Charles Ssali, owa Buganda Twezimbe.
Obwakabaka bukiikiriddwa Katikkiro, Oweek. Charles Peter Mayiga, ng'awerekeddwako Baminisita, Abaami ab’Amasaza; n’abaweereza b’Obwakabaka ku mitendera egy’enjawulo.
Katikkiro yeebazizza omugenzi olw’ebbanga eddene lye yaweereza Kabaka obulungi ng’ow’omuluka, so nga n’ekika kye abadde akiwagira. Amwebazizza olw’okukuza obulungi abaana be mu mpisa ez’obuntubulamu, nga balina eddiini, ate ng’abakozi, nga ye bw’abadde.
Gavumenti eyawakati ekiikiriddwa Minisita w’Ettaka, Hon. Judith Nabakooba, naye asiimye omugenzi olw’okukuza obulungi abaana.
Omuk Charles Ssali, yaayogedde ku lw’abaana, ne basiima nnyo kitaabwe olw’okubakuza obulungi, n’abasigamu eddiini, okukola ennyo n’okwagala Obwakabaka.
Ekitambiro kya Missa kikulembeddwa Bishop Joseph Anthony Zziwa, n’akubiriza abantu okweyisa obulungi bafune empeera za Katonda.