Muteesa 1 University
Ssetendekero y’Obwakabaka Muteesa I Royal University kyaddaaki efunye Charter gyebadde erindiridde okumala ebbanga.
Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa Ow'ekitiibwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ng'awa Charter
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa Omukulembeze w'Eggwanga H.E Yoweri Kaguta Museveni, kikakasizza nti Pulezidenti Museveni akkirizza Muteesa I Royal University aweebwe charter era naalagira akakiiko ka National council for higher education okukola enteekateeka ezisembayo okuwa Muteesa ebbaluwa ekakasa okufuna charter.
University Charter kyekiwandiiko ekyoku ntikko ekitongole ekirondoola amatendekero agawaggulu ki National Council for Higher Education gyekiwa University etuukirizza ebisaanyizo.
Okusinziira ku tteeka erifuga amatendekero agawaggulu erya Universities and Other Tertiary Institutions Act, Charter eraga obukakakfu nti settendekero ebeera etuukiriza ebisanyizo byonna ebyetaagisa munjigiriza ya University, era ng’eri ku mutendera gwe gumu ne University za government.