Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule, omukubiriza w'olukiiko lwa Buganda, nga atuuza Mukwenda, omwami w'Essaza Ssingo
Omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda, Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule, kulwa Katikkiro, yaatuuzizza Mukwenda Deo Kagimu n'abamyuka be mu buvunaanyizibwa bw'okukulembera Ssaza Ssingo. Omukolo guno gwabaddewo nga ayambibwako Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa Kabaka, n'ensonga za Buganda ebweru, Oweek. Joseph Kawuki.
"Twagala obukozi bwa Omwami we Ssaza n'Abaami ba Kabaka bonna muleme kubeera na nkwe kubanga ezo buli kiseera zikulembera kigwo".
Eno yeemu ku ntanda Omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule gyasibiridde Abaami ba Kabaka bwabadde atuuza Omwami w'Essaza Ssingo, Mukwenda. Deo Kagimu n'Abamyuka be, Moses Tusuubira omumyuka asooka, Regina Naseremba omumyuka owookubiri, Jjumba Steven omumyuka owookusatu, mu buvunaanyizibwa obwabakwasibwa Ssaabasajja Kabaka okumulamulirako e Ssaza Ssingo.
Ategeezezza nti Enkwe zigootaanya entambuza y'emirimu, zifeebya obukozi n'obumalirivu bw'omuntu ekimuviirako okusuulawo obuvunaanyizibwa olw'embeera mwakolera etaliimu bwerufu. Agamba nti okutuuza omwami wa Kabaka mukolo mukulu nnyo mu Buganda kubanga obuvunaanyizibwa buweebwa oyo asumuuse mu banne mu kunyweza n'okukuuma Nnamulondo, asobola okumanya obuyinza bwe webukoma ate n'atendeka n'abalala okutwala e Ssaza mu maaso.
Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule nga atuusa obubaka bwa Katikkiro
Awonno kyetaagisa okukola obuteebalira ate nokwagaliza abalala okukola emirimu egyo egisitula e Ssaza olwo n'Amasaza amalala gatwale eky'okulabirako.
Abakuutidde okukumaakuma abantu ba Kabaka bonna awatali kwawula mu nzikiriza, amawanga, eby'obufuzi, kubanga bonna bantu ba Kabaka.
Nga Buganda ekyayayanira okufuna enkola ya Federo, kikulu ow'essaza okuteeka obuvunaanyizibwa bwayolekedde mu bikolwa nga agoberera ennambika y'obukulembeze mu bwakabaka okuva ku Ssaza, Ggombolola, omuluka, obutongole, kino kiraga Federo ey'ekimemette etudde mu bwakabaka bwa Buganda.
Oweek. Mukwenda Deo Kagimu n’abamyuka be nga bakuba ebirayiro by’obukulembeze
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa Kabaka n'ensonga za Buganda ebweru, Oweek. Joseph Kawuki, alaze Mukwenda ne banne entabaalo zeboolekedde okusobola okukuuma Buganda nga nywevu okuli; okwanganga abateeka ebifaananyi ebiwebuula Kabaka, Katikkiro n'Abaami ba Kabaka ku mitimbagano, abasekeeterezi abali mu Ssaza Ssingo naabo ab'enkwe abalemesa enkulaakulana okugenda mu maaso, kiri eri Mukwenda okubanganga awatali kwemotyamotya.
Mukwenda omuggya, Deo Kagimu n'Abamyuka be balaze enteekateeka zebalina mu kutambuza emirimu gye Ssaza nga, okuyoyoota buli mbuga ye Ggombolola etuukane n'omutindo era kino basuubira wetunaatuukira mu Ssebaaseka w'omwaka ogujja nga kijjiddwako engalo, basizzaawo emmerezo z'endokwa ze mmwanyi abalimi webanaazisanga okuzitwala ng'omu ku kaweefube w'okuwagira enteekateeka ya mmwanyi terimba, balina enteekateeka yokuteeka bbugwe ku mbuga ye Ssaza okwewala abasaatuusi.
Oweek. Joseph Kawuuki nga yogerako eri abakulembeze abatuziddwa
Mu kwagala okunyweza obumu mu banna ssingo bagenda kussaawo olunaku lwa banna ssingo olunaakuzibwanga buli mwaka ku mbuga ye Ssaza.
Olukiiko Mukwenda lwakulembera nalwo e Ssaza, lukubye ebirayiro ebibakkiriza okutwala obuvunaanyizibwa buno.
Omukolo gukulembeddwamu ekitambiro ky'e mmisa ekiyimbiddwa omusumba wa Kiyinda Mityana Diocese era Ssentebe w'olukiiko olutaba abeepisikoopi mu ggwanga, Joseph Anthony Zziwa, ne bannaddiini okuva mu nzikiriza ez’enjawulo.
Ku mukolo guno ba Mukwenda bonna abawummuze bagwetabyeko era beeyamye okukwatizaako Deo Kagimu asobole okutuukiriza obulungi obuweereza obumuweereddwa.