Omutaka Namwama ne minisita we by'obuwangwa Oweek Anthony Wamala ku butaka bwe Kika ky'olugave
Minisita Anthony Wamala ow'Obuwangwa, Embiri, Amasiro Obulambuzi n'Ebyokwerinda enteekateeka eno agitandikidde Buzimwa ku butaka bw'Ekika ky'Ekkobe era eno ayaniriziddwa Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba, omukulu w'Ekika era Omukubiriza w'Olukiiko lw'Abataka.
Oluvannyuma agenze e Katende ku butaka bw'Ekika ky'Olugave gy'ayaniriziddwa Katikkiro w'Ekika Mw. Godfrey Katende Natigo.
Oweek. Anthony Wamala nga ayogerako ne bakulira ekika ky'olugave
Minisita agamba nti Buganda okudda ku ntikko n'Ebika birina kuba ku ntikko nga birina obukulembeze obunywevu, abazukkulu nga bajjumbira emirimu n'enteekateeka z'Ebika byabwe, n'Ebika nga bikola emirimu egy'enkulaakulana.
Omutaka Nnamwama akubirizza abazukkulu okujjumbira enteekateeka z'Ebika byabwe n'asaba abakulembeze b'Ebika okujjumbira enteekateeka eno etunuuliddwa okusitula ekifaananyi ky'Ebika mu Buganda.