
Emu ku nnimiro z’emmwanyi ezalambuddwa
Katikkiro Charles Peter Mayiga alambudde omulimi w’emmwanyi era omulunzi w’ebisolo, Omwami Anthony Mateega, mu Ssazza Mawokota. Yasabye abaami ba Kabaka bonna okwongera okusaasaanya amawulire agakwata ku kulima n’okulunda okusobola okugoba obwavu mu Buganda.
Okulambula kuno kubadde mu Ggombolola ya Mumyuka Kammengo ku kyalo Mpondwe Kibanga, awaasangiddwa Omwami Mateega ng’alima yiika 70 z’emmwanyi era n’alunda enkoko ezimuwa ekigimusa.
Katikkiro Mayiga asabye abakulembeze ku mitendera egyenjawulo, naddala bannaddiini, okutandikawo enteekateeka ezirwanirira okukyusa embeera z’abantu be bakulembera. Bino abyogeredde mu Ssaza Mawokota bw’abadde alambula faamu ya Mateega.

Katikkiro Mayiga (ku ddyo) nga atuuse ku nnumiro ya Mw. Anthony Mateega (ku kkono)
Owek. Mayiga agamba nti okukyusa embeera z’abantu kiteekwa okwenyigiramu ne bannaddiini, kubanga tebalina kukoma ku kuliisa Kigambo kyokka. Yagambye nti ne Bayibuli egamba nti, ‘atakole n’okulya telyenga.’
Kamalabyona asoose okulambula Ggombolola ya Mumyuka Kammengo, gye yasangiddwa enkoko n’emmwanyi ku yiika 70, era n’akyalira ekifo awagenda okutondebwawo enkola y’okufukirira emmwanyi. Oluvannyuma, ayolekedde e Ssaabagabo Muduuma ku kyalo Bbulamazzi okulambula faamu endala ya Omwami Mateega, eweza yiika 30. Wano, yasanzeewo ssirimuwa wa mmwanyi, ennimiro y’ebisolo okuli ente, embuzi, enkoko, ne Ssekkoko.
Kamalabyona alaze obwetaavu bw’okukola enkyukakyuka ez’enkizo mu bulamu bw’abantu ba Kabaka, naddala abakulembeze, kubanga basasula omusolo mungi. Asabye buli muntu okukwatako, nga yeetaba mu nteekateeka ez’omugaso nga Mmwanyi Terimba.

Katikkiro Mayiga ng'alambula ebisolo bya Mwami Anthony Mateega
Omwogezi w’Obwakabaka, Kayima Sarah Nannono, naye alaze obwetaavu bw’abantu ba Kabaka okulima gonja mu Buganda, kubanga walimu akatale era watunzi.
Omwami Anthony Mateega, mu kwogerako ne Kamalabyona, alaze obwenyamivu olw’obwasemugayaavu obuli mu bantu ba Kabaka, ng’ate ebikozesebwa babirina. Yasabye abakulembeze ba Kabaka okunyweza enteekateeka z’okwongera obulimi n’obulunzi.
Abaami ba Kabaka ab’eggombolola n’emiruka bebazizza Katikkiro Mayiga olw’okubatwalira enteekateeka ez’omugaso ez’Obwakabaka, ezisobola okukyusa obulamu bw’abantu ba Buganda.