Oweek Ssaalongo Sserwanga Robert nga akutte mansita pulaani
Minisitule y'Abavubuka, emizannyo n'Ebitone, efulumizza enteekateeka kwebanaatambulira omwaka guno.
Enteekateeka eno eyanjuddwa Minisita w'Abavubuka Emizannyo n'Ebitone, Oweek Ssaalongo Sserwanga Robert, mu nsisinkano n'abatwala eby'emizannyo mu Bwakabaka, abaami ba Kabaka, abakulembeze b'Abavubuka mu Masaza ne bannabyamizannyo.
Oweek Ssaalongo Sserwanga Robert n'abatwala eby'emizannyo mu Bwakabaka, abaami ba Kabaka mu kifaananyi ekyawamu
Minisita Sserwanga asinzidde wano naasaba bannamikago okukolera awamu n'Obwakabaka okutumbula embeera z'abavubuka nga beesigama ku nteekateeka eno.
Oweek Sserwanga ayagala buli muvubuka yenna mu Buganda abeeko kyakola nga agoberera ennambika y'omwaka eyabavubuka.
Empaka z'emizannyo ku maggombolola zitandika 27 omwezi guno.
Ensisinkano ebadde ku Bulange nga yeetabiddwamu, Ssentebe w'empaka z'Amasaza Hajji Sulaiman Ssejjengo, Oweek Hajji Katambala Sulaiman Magala akulira empaka z'Ebika, abakiise b'abavubuka mu lukiiko lwa Buganda, n'abalala.