Wano nga bali mu kifaananyi eky'awamu ku butaka bw'Ekika ky'Enkejje
Minisita w'Obuwangwa n'Ennono, Oweek. Dr. Anthony Wamala, leero asiibye Kyaggwe mu kyalo Namukuma ku butaka bw'Ekika ky'Enkejje.
Kino kyaliko kika kya 10 Minisita ky'alambudde mu nteekateeka Obwakabaka gye bwatandikawo ey'okulambula Obutaka bw'Ebika n'ekigendererwa eky'okuzza omugundu mu ssiga lino.
Oweek.Wamala yakkaatiriza ensonga 4 ezinaayamba okubbulula Ebika:
Okunyweza Obukulembeze bw'Ekika ku mitendera gyonna.
Okukuuma eby'obugagga bw'Ekika nga kikolebwa okuyita mu kuwandiisa enkiiko z'Abayima b'Ekika.
Okukunga n'okwagazisa abazukkulu emirimu gy'Ekika.
Okutema empenda ezikulaakulanya Ebika, obukulembeze bw'Ebika bubeere n'ennyigiza, nga buteekawo n'enteekateeka eziganyula abazukkulu.