Oweek. Mariam Mayanja n'Omulangira Dan Kajjumba nga basimba omuti
Oweek. Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo akulembeddemu kaweefube w'okusimba omuti gwa Kafene (Breadfruit tree) mu lubiri lwa Ssaabasajja Kabaka e Mmengo nga guwereeddwayo ekitongole kya Tri Trees.
Oweek. Mariam Mayanja ategezeeza nti omuti guno gwa nkizzo olw'ebibala ebiguvaako era guyambaako ne mu kukola emmere ey'obuwunga eriibwa abantu n'ebisolo, gukolebwamu emigaati n'ebirala.
Omulangira Rev. Dan Kajjumba akulembeddemu aba Tri Trees ayogedde ku lugendo lw'okusimba emiti gino mu Uganda nga baatandikira mu masomero era nti emiti gitunuuliddwa okuyambako okwongera ku mmere abayizzi gye balya mu masomero.
Emiti gino giva wabweru w'eggwanga mu Caribbean nga gisinga kusimbibwa mu mawanga nga Malaysia ne Croatia