
Owek. Nakate Kikomeko nga alinabasawo.
Abaana abalina kkookolo mu ggwanga Uganda babalirirwa okuba wakati we 3000 ne 5000 abazuulibwa buli mwaka naye ate okunonyereza okuva mu kitongole ky’ebyobulamu mu Nsi yonna ki ‘World Health Organisation’ kulaga nti batono nnyo kw’abo abafuna obujjanjjabi era ebitundu 70% kikumi bamaliriza bafudde buli mwaka.
Mu kulafuubanira okutaasa abaana okuvvuunuka ekirwadde kya kkokolo, Minisita w’enkulaakulana y’abantu mu Bwakabaka Owek. Choltilda Nakate Kikomeko akyaddeko ku Uganda Cancer Institute e Mulago mu woodi y’abaana abali wansi w’emyaka 18 n’ekigendererwa ky’okubazzaamu essuubi n’amaanyi ate n’okwetaba mu nteekateeka z’okukunganya ensimbi okuzimba ekisulo kya balwadde n’abajjanjabi mu kifo kino.
Musawo Nabakooza Suzan akulira woodi y’abaana abalina kkookolo mu Uganda Cancer Institute annyonnyodde nti bajjanjaba abaana bonna abali wansi w’emyaka 18 kyokka abagisussa batwalibwa mu woodi ya bakulu so basigala bagoberera nga balafubanira okuwona kwabwe era ono wano w’alagidde nti balina obwetaavu bw’ekisulo kuba ne woodi yabwe ntono nnyo ku baana be balina okukolako.m
Musawo Suzan mu ngeri y’emu anyonyodde ebimu ku bika bya kkookolo ebisinga okwerisa enkuuli mu baana okuli kkookolo w’omusaayi, kkookolo ow’amaaso, ow’ensigo, ow’ebibuno, ow’amagumba n’ebinywa n’omulala nga abakugu bakozesa ebyuma bikalimagezi ebyawula mu kika ki ekituufu ekiba kirumbye omubiri gw’omwana.
Ono era azizzaamu amaanyi abazadde nti kkookolo asinga obungi awona singa omwana aba atwaliddwa mangu mu mikono gy’abasawo, asabye abazadde obutakyawa baana baabwe kuba kkookolo tasiigibwa busiigwa wabula ava ku bintu bingi ebikyanonyerezebwako n’ebimu nga buzze bibuulirwa abantu.
Musawo Nabakooza anyonyodde ku maanyi g’eddagala erikubibwa abaana bano, “kkookolo bw’alumba omubiri agukukenenula kyokka n’eddagala lyetuwa lyongera gukunenula kuba bwe lituuka mu mubiri ligezaako okutta obutofaali bwa kkookolo awo mweritwalira obutofaali obulamu era obw’omugaso ekiviirako emibiri gya baana okukoga n’okunafuwa, kale tusanyukira buli ajja okutweyungako nga awaayo ebyo ebisobozesa abaana baffe okuwona”.
Ye Moses Echodu akulira Uganda Child Cancer Foundation ekitongole ekirafubanira okutaasa abaana abalina ekirwadde kya kkookolo alaze nti obwetaavu bwe balina kakano kwe kuzimba ekisulo ky’abaana kuba oluusi bazadde baabwe bakaluubirirwa okubatwaala mu ddwaliro okufuna obujjanjabi nga abasawo bwebaba babalagidde ekireetera okukerewa kw’okuwona kwabwe.
Ono mu ngeri y’emu asabye buli muntu okubeyungako okuwaayo buli kye basobola nga emmere, ensimbi n’ebirala nga bataasa abaana abo.Ye minisita Nakate asiimye nnyo aba Uganda Child Cancer Foundation olw’okwolesebwa kw’okugaziya waadi ya baana ”Foundation eno eyagala okulaba abantu ffena gye tuli nga tuyamba abaana abalina kkookolo nga tubagaziyiriza ekisulo kuba wabaawo okulemererwa mu by’entambula eri abalwadde ekintu eky’akabaate kale omulamwa guno mulungi nnyo mu ggwanga” Minisita Nakate bw’anyonyodde.
Muwonge David, mukwanaganya wa byabulamu mu Bwakabaka, asabye ekitongole kino okussa omulaka ku kutaasa abantu nga balagira ddala ebyo ebiviirako kkookolo nga tebatiriridde makampuni gabikola nga eky’okulabirako awadde sigala omupya akyajingwa mu masanyalaze, n’agamba nti ono n’ebintu ebirala eby’obulabe bisaana okutaasa abaana obutabikozesa.